Amawulire

Abataamatidde na ngaba ya kkaadi ya NUP ku kifo ky'omubaka wa Makindye East bajulidde

Robert Ssekidde amanyiddwa nga Tuff B  ne  James Wampamba nga bawaayo okwemulugunya kwabwe okw'awamu eri akakiiko.

Abataamatidde na ngaba ya kkaadi ya NUP ku kifo ky'omubaka wa Makindye East bajulidde
By: Paul Galiwango, Journalists @New Vision

Abaali bavuganya ne mmeeya w’e Makindye Ali Kasirye Nganda ku kkaadi ya NUP ku kifo ky'Omubaka wa Makindye East East bataddeyo okwemulugunya okw’awamu nga baagala akakiiko keetegereze obuyigirize bwe naddala obwassiniya eyookuna.

 

Bano bamulumirizza okukozesa empapula za muto we n'azifuula ezize ne yeetuuma amannya ga muto we.

 

Bano nga bakulembeddwa Robert Ssekidde (Tuff B) ne James Wampamba bategeezezza nti bakoze okunoonyereza ne bakizuula nga Kasirye talina buyigirize aba NRM kwe bayinza okwesigama NUP n’ewangulwa ne basaba akakiiko okukitunulamu nga bukyali.

 

Bagasseeko nti Kasirye si mutuuze wa mu kitundu era talinaamu yadde amaka wadde nga ssemateeka amukkiriza okwesimbawo wonna w’ayagala wabula era yavvoola ezimu ku nnono z'ekibiina.

 

Bategeezezza nti teyasabira mu budde kuvuganya ku kino kya Makindye East kuba yasooka kusaba Makindye West nga kyabeewunyisa nnyo engeri gye yaddamu mu Makindye East ng’ate okuzzaayo empapula kwali kwaggalawo.

 

Bano baagala akakiiko keetegereze ensonga zaabwe kakolere okusalawo okutuufu nga kalonda omu ku bo okubakwatira ekibiina tiketi.

Tags:
Robert Ssekidde
Kunyiiza