Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobiwine ne mukyala we Barbie batuukidde mu mizira ku kissaawe Kya Bulumba mu disitulikiti ye Kaliro wakubye olukungaana lwe olusoose olunaku olwaleero.
Bobi Wine ng'atuuka e Kaliro
Kyagulanyi ayanariziddwa bannakibiina ab'enjawulo abaweereddwa kkaadi okuvuganya ku bifo eby'enjawulo.
Bwabadde ayogerako eri abawagizi be Kyagulanyi abasuubiza okubatwala mu Uganda empya n'okukola ku bizibu ebibanyigiriza naddala obwavu, enguudo embi, eby'obulamu n'ebyenjigiriza ebiri mu mbeera embi mu kitundu kino.
Bobi Wine ng'aggulawo offices e Kaliro
Yeeyamye okunyulula ebyenfuna yabali bebikajjo nabavubi abagobwa ku nyanja. Oluvannyuma Kyagulanyi yeyongeddeyo mu disitulikiti ye Luuka gyagenda okukuba olukungaana lwe olusembaayo leero.