OMUTAKA Kalibbala Adnan Nsozi nga y’akulira ekika ky’ensenene alonze olukiiko oluggya olugenda okumukulembererako ekika kino nga lukulemberwa Katikkiro Ian Azariah Kabali Kajubi.
Ono amyukibwa Dr. Frank Bunnya Sebbowa ne Mark Kajubi Nteyafa. Omuwandiisi ye Hassan Sendawula ate Kajubi Moses Mukeeze ye Mukubiriza w’olukiiko.
Olukiiko luno lwatongozeddwa ku lwokutaano March 8,2024 ku mukolo ogwabadde ku Lubiri SS mu Kampala nga gwakulembeddwamu eyaliko Sipiika wa Buganda,Nelson Kawalya n’abasaba okukolerera okugenda mu maaso okw’ekika kino ate n’okukuuma eby’obugagga bwaakyo.
Dr.Fred Micheal Kalanzi ye w’ebyenfuna,Moses Ssepuuya wa byankulakulana,Ssalongo Ronald Mpagi wa byampuliziganya,Sulaiman Mpagi ye w’ebyabavubuka,emizannyo n’okwewumuzaamu,Livingstone Sempiira wa nnono.
Ye Nnalongo Elizabeth Ssepuuya Mukasa ali ku kifo ky’Abakyala,abaana n’ebyenjigiriza. Robert Ssewanyana Mujabi yalondeddwa okubeera ku kya Ssabakunzi,Ashiraf Kalanzi wa mateeka,John Kironde Ssenteza ye Kalondoozi.
Isaac Ssegwaanyi ye mwogezi ate Ivan Darlington Mwebe avunanyizibwa ku mawulire g’ekika. Mponye Wamala Kalibbala wa ttaka ate obwegassi butwalibwa Christopher Mujjabi.
Katikkiro Kabali Kajubi yategezezza nti olukiiko luno lusuubirwa okukola emirimu egiyunga ekika n’Obwakabaka okuli emipiira gy’ebika,okwetaba ku mikolo gy’Obwakabaka n’emirala.
Walondeddwawo abakulira obukiiko,abakikkirira Omutaka Kalibbala mu masaza nga mu Kyadondo Omubaka wa Palamenti Allan Ssewanyana y’amukikkirira ate n’abawi b’amagezi