Amawulire

Omutaka Lwomwa alayizza abakulira kkooti y'ekika

OMUTAKA Lwomwa, Eng. Daniel Bbosa ow’ekika ky’endiga, akuutidde abakulembeze ba kkooti y’ekika abalayiziddwa,  okubeera abeerufu, ab’amazima,  okusobola okutaawulula enkaayana mu kika naddala ezikwata ku; bukulembeze, ettaka n’obuwangwa.

Eria Buzaabo Lwasi ssentebe wa kkooti y'ekika Ky'endiga omuggya ate mu ntebe ye mukulu w'ekika ky'endiga omutaka Lwomwa
By: Vivien Nakitende, Journalists @New Vision

OMUTAKA Lwomwa, Eng. Daniel Bbosa ow’ekika ky’endiga, akuutidde abakulembeze ba kkooti y’ekika abalayiziddwa,  okubeera abeerufu, ab’amazima,  okusobola okutaawulula enkaayana mu kika naddala ezikwata ku; bukulembeze, ettaka n’obuwangwa.

Lwo 2(1)

Lwo 2(1)


Abyogeredde  Mengo ku ofiisi y’akasolya  k’ekika ky’endiga , bw’abadde akakasa n’okulayiza olukiiko lw’abantu 17 abalondeddwa okulamula emisango egikwata ku bukulembeze, ettaka n’obuwangwa , kkooti eno emaze ebbanga nga teriiwo.
 Lwomwa agambye nti, emisango mingi mu bazzukulu be naddala egikwata ku busika n’ettaka,  naasaba abalondeddwa okubeera abeerufu, okukwata ensonga n’obuvunaanyizibwa awatali kyekuubira, baasobole okutaawulula ensonga abazzukulu babe bumu.

Lwo 7

Lwo 7


Abantu 17 beebalondeddwa ku lukiiko lwa kkoti y’ekika,  nga lukulirwa Eria Buzaabo Lwasi nga ssentebe, n’amyukibwa Badru Kiyingi, Christopher Kalyesuubula omuwandiisi, Robert Nviiri amyuka omuwandiisi, , nabakiise okuli ne munnaamwaulire wa Bukedde Dickson Kulumba n’abalala okuli;  Mathew Kibuuka,  Sarah Nkonge, Lawrence Kisakya Lutalo, Paul Kiyingi Luwombo, Justine Namitala, John Ssebwato, Stephen Sserunkuuma, Edward Ssemukuutu, Kiguli Mayanja,   J C Kiyingi Kayigwa, Yusuf Kabaale ne Dr Fredrick Ssekubunga Nkonge.
Tags: