Amawulire

Omusumba wa Trump azze mu Uganda okusomesa abantu Bible

OMUWABUZI wa Pulezidenti w’America Trump, mu by’omwoyo Pr. Dr. Paula White Cain, essaawa yonna atuuka mu Uganda okubuulira enjiri n’okubangula bakulembeze ku ngeri gye basobola okukwatamu abantu.

Pr. Dr. Paula White Cain ng'asabira Trump
By: Peter Ssuuna, Journalists @New Vision

OMUWABUZI wa Pulezidenti w’America Trump, mu by’omwoyo Pr. Dr. Paula White Cain, essaawa yonna atuuka mu Uganda okubuulira enjiri n’okubangula bakulembeze ku ngeri gye basobola okukwatamu abantu.

Mu lukungaana olutegekeddwa omusumba w’e Kanisa ya Miracle Centre Cathedral e Lubaga Robert Kayanja, lwakubeerawo okuva nga November 12-16, 2025 n’ekigenderwa ky’okusomesa abantu mu by’obukulembeze n’enkulaakulana ssaako okubalyowa emyoyo.

Okusinziira ku Kayanja, olukugunaana luno lwakwetabwamu n’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni agenda okwenyigiramu butereevu ng’akwata ennoni okusomesa abasumba ku ngeri gye basobola okwekulaakulanyamu okuva mu bwavu.

Kayanja yagambye nti ng’abasumaba, bulijjo Pulezidenti bamulabira ku Ttivvi ng’asomesa abantu ku nkola z’okwekulaakulanya nga PDM ky’ava amusaba nabo okubafisizzaayo akadde abasomese naye kye yakkirizza nga waakubeerawo ku Lwokutaano.

Yagambye nti ku olwo Museveni agenda kutongoza ekisaawe kyabwe ekitambuzibwa eky’omulembe. Yayongeddeko nti kibeere kya kulabirako nti ebintu bye balaba ng’ebyebbeeyi ate bisobola okuleetebwa kuno ne bibuna ebitundu byonna eby’eggwanga.

Omusumba Kayanja yagambye Pr. Dr. White y’omu ku bawi ba Pulezidenti Trump amagezi era y’agenda okubeera omwogezi omukulu nga waakuyigiriza engeri y’okuwa abakulembeze amagezi n’asaba abantu okubeerawo okumuwuliriza.

Omuduumizi w’eggye lya America ezibizi ow’e 76 Major General Daniel York naye waakubeerawo ng’asomesa abakulembe ku mbala (integrity), engeri omukulembeze gy’abeera omutuufu nga teyenyigira mu buli bwa nguzi, teyekkusa yekka ate nga tanyigiriza balala.

Abasomesa abalala baakusomesa ku byuma kalimagezi n’enkozesa ya Tekinologiya wa “AI” kubanga kati be baana baliwo okugonjoola ebizibu by’ensi okugeza okuzesebwa mu malwaliro, eby’empuliziganya, eby’obuzimbi n’ebirala.

Yakubirizza abantu bonna okubaawo naddala abasomesa, abasumba, abasuubuzi n’abakulembeze bonna okutandikira ku LCI okufuna ku magezi gano.

Omusomo guno gusuubira okubeeramu abakulembeze okuva mu mawanga agasukka mu 30 okwetooloola ensi yonna. Mu ngeri yemu ku Lwomukaaga wagenda kubeerayo omusomo gw’abasuubuzi ku ngeri gye basobola okuzimbamu Bizinensi zaabwe okutuuka ku ddaala ly’ensi yonna era ssente ezinaavaamu za kuyamba ku Karamoja.

Kayanja agamba nti kino kigenda kuteeka Uganda ku mmaapu okwetotoolola ensi yonna. Yategeezezza nti eby’okwerinda byonna binywevu wabula yabakuutidde obutajja na bissi ebiyinza okutuusa obulabe ku bantu.

Tags: