Amawulire

Omusumba ayimbuddwa ku kakalu ka kkooti

OMUSUMBA w'ekkanisa ya Lusaze Christian Fellowship ayimbuddwa ku kakalu ka kkooti ka 500,000/- ez’obuliwo oluvannyuma lw'okumala wiiki bbiri mu kkomera e Nakifuma.

Abaserikale b’amakomera nga bawerekera omusumba Mutagubya (wakati) ku kkooti.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

OMUSUMBA w'ekkanisa ya Lusaze Christian Fellowship ayimbuddwa ku kakalu ka kkooti ka 500,000/- ez’obuliwo oluvannyuma lw'okumala wiiki bbiri mu kkomera e Nakifuma.
Omulamuzi Peter Gukiina, owa kkooti esookerwako e Nakifuma ye yayimbudde Bingi Polycarp Mutagubya, ku kakalu ka kkooti ka 500,000/- nga za buliwo, ate abamweyimiridde okubadde Betty Nalwadda mukyala we ne mwannyina Jane Mbaita obukadde 5 buli omu nga si za buliwo.
Mutagubya avunaanibwa gwa kulemera biwandiiko by'ettata ly'ekiggya kya famire y'omugenzi Evelitius Mutagubya, ng'ayagala okulyezza. Ettaka lino lisangibwa LuseraKasawo mu disitulikiti y’e Mukono. Omusumba Mutagubya naye mwana mu famire eno era naye aziikibwa ku kiggya ekyo.
Aba famire eno baalina ekiggya e Kasubi Lubya mu Lubaga nga ne kitaabwe omugenzi Mutagubya we yaziikibwa mu 1996. Wabula ekiggya kino kyajjula ne basalawo mu 2009 okugula ettaka eddala ery'ekiggya, ng’obuvunaanyizibwa bw'okulinoonya n'okulisasula bwaweebwa Omusumba Mutagubya.
Ettaka eririko yiika emu lyagulwa e Lusera Kasawo mu Mukono era baakaziikako abafu kkumi.
Wabula Mutagubya yagaana okuwaayo ebiwandiiko by’ettaka linobye bamusabidde emyaka 5 nga yeebuzaabuza. Mu October wa 2025, yatageeza ng’ebiwandiiko bwe byamubulako.
Abooluganda nga baakulembeddwaamu Jane Mbabazi ne Daniel Ssekyanzi ne baaggulawo omusango nga bamuvunaana okulemera ebiwandiiko n’ekigendererwa ky'okwekomya ettaka.
Ono yasimbiddwa mu kkooti n’asomerwa ogw'okulemera ebiwandiiko by’ettaka n’agwegaana. Omulamuzi yagambye nti abantu abazze okumweyimirira baatuukirizza ebisaanyizo, bw’atyo n’amuyimbula ku kakalu. Omusango yagwongezzaayo okutuusa nga March 20, 2026

Tags: