Amawulire

Abadde abika omwana we afune amabugo mu kkanisa bamuyitidde poliisi

OMUSAJJA abadde agufudde omuze okugenda mu masinzizo n’alimba abaweereza nga bw’afi iriddwa omwana ne bamusondera amabugo akiguddeko bwe bamukwatidde mu kkanisa ng’alimbye abaweereza n’Abakristaayo ensonga y’emu.

David Ashabahebwa, afukamidde eyakwatiddwa ng’afera Abakristaayo e Nsambya.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

OMUSAJJA abadde agufudde omuze okugenda mu masinzizo n’alimba abaweereza nga bw’afi iriddwa omwana ne bamusondera amabugo akiguddeko bwe bamukwatidde mu kkanisa ng’alimbye abaweereza n’Abakristaayo ensonga y’emu.
Bino byabaddewo ku Ssande mu kkanisa ya St. Stephen Church of Uganda esangibwa
mu nkambi ya poliisi e Nsambya, omusajja David Ashabahebwa,36, omutuuze w’e Nsambya Kirombe bwe yagenze ne yeetaba mu kusaba okwabadde kugenda mu maaso.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Rachael Kawala yagambye nti, okusaba mu kkanisa eno kwatandise ku ssaawa 3:00 ez’oku makya era Ashabahebwa y’omu ku baakwetabyemu n’agoberera bulungi ebyabadde bigenda mu maaso.
Okusaba nga kunaatera okuggwa, Ashabahebwa yasituse ’asaba Omwawule n’Abakristaayo abaabadde mu kkanisa okumusabira kuba  yabadde afi iridddwa omwana
we ow’emyaka 9 nga ye Rita.
Natukunda. Abaweereza baamusabidde, wabula yabadde afuluma, omu ku baweereza kwe kwetegereza Ashabahebwa n’ategeeza nga bwe yabaggyako ssente mu lukujjukujju bwe yagenda mu kkanisa e Gayaza n’abalimba nti, yafi iriddwa omwana ne bamusondera amabugo ga kakadde kamu. Ono ye yayise poliisi n’emukwata n’atwalibwa ku poliisi e Kabalagala.
Kawala yagambye nti, poliisi eri mu kunoonyereza ku Ashabahebwa oluvannyuma lw’okumuggulako omusango gw’okufuna ssente mu lukujjukujju n’asaba abantu bonna abayinza okuba nga baaferebwa omuntu eyeefudde afi iriddwa omwana naddala ab’amasinzizzo bagende ku poliisi e Kabalagala bakole siteetimenti.

Tags: