BANNAKAWEMPE balumirizza abalonda ebyuma ebikadde nti beeyongedde okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka nga kati bamenya n’amayumba.
“Amazima ddala omuntu n’omusanga ekiro ssaawa 9 nti alonda byuma n’osanga omuvubuka ng’atadde emizindaalo mu kaveera amatumbibudde n’akugamba nti sikulaapu. Kati bayingira ne mu mayumba emisana ne babba,” omu ku batuuze bwe bategeezezza.
Abatuuze bagamba abaana abato myaka 8, abavubuka ssaako n’abantu abakulu baazuula ekyama mu kulonda obucupa n’ebyuma ebikadde bafune ssente wabula abamu babalumiriza okuva ku mulamwa ne babba nga kati bamenya n’amayumba ne babba.
Amos Betungula, akulira poliisi y’oku Kaleerwe yategeezezza nti abaana nabo balina amateeka agabafuga nga singa bakwatibwa nga kyetaagisa okubatwala e Kampiringisa. Yasabye abatuuze singa bakwatira abaana bano mu bikolwa ebikyamu, tebabakuba wabula babatwale ku poliisi kuba abamu beenyigira mu bumenyi bw’amateeka lwa bulagajjavu bw’abazadde.
William Ssekandi ow’e Nammere yagambye nti abeebyokwerinda balina okusitukiramu ku balonda ebyuma ebikadde kuba baava dda ku mulamwa kati babbi abawedde emirimu ng’ate abamu baana bato olukwatibwa poliisi ebayimbula nti amateeka tegakirizza ku basiba ekyongedde okubawaganyaza.
Isma Nsanja, omumyukawa ssentebe mu Ssebina Zone yagambye nti abantu kati batya n’okuleka emmere ku ssigiri wabweru kuba abavubuka bagiyiwa ne batwala ssigiri n’entamu ng’ate ekisinga okwewuunyisa, baana nzaalwa za mu bitundu.Yagambye waliwo n’ababambulula amabaati ku mayumba ne bagatwala ne bagatunda.
Yasabye abazadde okukomya okukulembeza emirimu ne basuula obuvunaanyizibwa bw’okugunjula abaana ekibaviiriddeko okukwatagana n’ebikoosi ebikyamu.
AGULA EBYUMA EBIKADDE AYOGEDDE
Abdallah Mutebi ow’omu Dobbi Zooni nga musuubuzi wa byuma bikadde n’obucupa yagambye ennaku zino tebamala gagula ku buli muntu ate n’atwalayo ebyuma ebiri mu mbeera ennungi basooka kumubuuza gy’abiggye kuba nabo bafiirizibwa nga bamaze okubigula ate poliisi n’ejja n’ebakwata. Yagasseeko nti kkiro y’ebyuma bagigula 900, ate mu kkampuni gye babitwala bagibagulako 1,200 ate kkiro y’obucupa ya 500 mu kkampuni eri 600