Amawulire

Owa poliisi agambibwa okutta abantu asindikiddwa ku limanda

SSERUWUOWA poliisi nga mukuumi wa minisita Aisha Ssekindi agam-bibwa okukuba abantu babiri amasasi agaabatta, asimbiddwa mu kkooti ne bamusomera emi-sango gy’obutemu.

Ssenyonga mu kaguli.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

SSERUWUOWA poliisi nga mukuumi wa minisita Aisha Ssekindi agam-bibwa okukuba abantu babiri amasasi agaabatta, asimbiddwa mu kkooti ne bamusomera emi-sango gy’obutemu.

Derrick Ssenyonga yasimbid-dwa mu maaso g’omulamuzi Selsa Biwaga mu kkooti ento e Masaka n’asomerwa emisango gy’obutemu n’okutuusa ku balala ebisago. Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Masaka East, Twaha Kasirye omuwawaabirwa akola mu kitongole kya poliisi ekya VIPPU ekivunaanyizibwa ku kukuuma abantu ab'enkizo mu ggwanga.

Yagambye nti Ssenyonga okukuba amasasi, yali atambu-lira mu mmotoka n'abamu ku bantu ba Minisita Ssekindi mu bitundu by'e Kyamuliibwa, ne basisinkana abawagizi ba Hellen Nakeeya eyalina kkaadi ya NRM ku kifo ky'omubaka omukyala owa disitulikiti y'e Kalungu.

Abattibwa kwaliko Gerald Katumba ne Frank Miyingo abaali mu mmotoka Drone UBD 131U, Ssenyonga gye yasasira amasasi. Yafeesi Ssennabulya ne Isma Kasozi bo baavaawo n'ebisago. Bino byaliwo mu kiro ekyakeesa olwa January 15, 2026, olwali olw’okulonda Pulezidenti n’ababaka ba Palamenti.

Nnamwandu wa Katumba, Mariam Nakyanzi nga mu kadde kano muzito, yabaddewo ku kkooti n’abaana baabwe ababiri. Hellen Nakeeya naye yabad-dewo ku kkooti n’ategeeza nti abattibwa baali bantu be nga yali abatumye okutwala amabaluwa eri baajenti be abaali bagenda okukuuma akalulu ke.

Ssenyonga yasindikiddwa ku limanda okutuusa nga March 5, 2026. Minisita Sekindi owa Inde-pendent ye yawagula ekifo kino n'obululu 25, 773 n’addirirwa Shakira Zzinga Namiiro owa NUP ku bululu 20, 966, Nakeeya eyali ku kkaadi ya NRM n'afuna obululu 5,498.

Tags: