ENTEEKATEEKA z’okukuza olunaku lwa Tarehe Sita ziri mu ggiya nga buli kimu kigenda kumalirizibwa.
Omwogezi w’ekibinja ekyokubiri, Maj. Kiconco Tabaaro yategeezezza nti, buli kimu kitegekeddwa bulungi.
Bukedde yatuuseeko awagenda okubeera emikolo gino ku Lwokutaano nga February 6, 2026 n’asanga nga poliisi n’ebitongole ebikuumaddembe bali mu kwegezaamu. Tabaaro yategeezezza nti, ku mulundi guno ebikujjuko babitutte Kabale mu Kabale munisipalite okujjukira omugenzi Kamuganguzi gwe baateebereza okuwagira abayeekera, amagye ga
Gavumenti eyali mu buyinza ne gamukuba amasasi mu lujjudde ku kisaawe ky’e Kabale. Kamuganguzi y’omu ku bantu 15 abattibwa ate omulala yali ayitibwa Masaba nga ono baamuttira Mbale.
Tabaaro yategeezezza nti, bamaze ekiseera nga baliko bye bakola mu kitundu okuli okuddaabiriza enguudo, okuteekawo ensiisira z’ebyobulamu mu disitulikiti okuli; Kisoro Kabale, Rukungiri, Rubanda ne Rukiga Minisita w’ebyesimbi, Henry Musasizi yategeezezza ng’olunaku luno okululeeta mu Kigezi kiraze nga waliwo okujjukira abaawaayo obulamu okuleetawo emirembe mu Uganda.