Amawulire

Kyabazinga yeyamye okutumbula eby'obulambuzi

KYABAZINGA asisinkanye abakulira ebyobulambuzi mu ggwanga nga bakulembedwamu Minister we we Kitongole kye byobulambuzi Hon Martin Mugara nga bano abasisinkanye mu lubiri lwe olusangibwa e Jinja Olumanyibwa nga Igenge Palace

Kyabazinga nga bamukwasa ekirabo
By: Ssempijja Godie, Journalists @New Vision

KYABAZINGA asisinkanye abakulira ebyobulambuzi mu ggwanga nga bakulembedwamu Minister we we Kitongole kye byobulambuzi Hon Martin Mugara nga bano abasisinkanye mu lubiri lwe olusangibwa e Jinja Olumanyibwa nga Igenge Palace. 

Mulusisinkana luno olw'etabiddwako abakungu abalala okuli Julian Kaggwa akulira ekitongole Kya Uganda Tourism Board (UTB) kwosa n'abalala nga wano Minister asabye Kyabazinga William Wilberforce Kadhumbula Nadiope Galuba  okutambula nabo mukulambula ebifo eby'obulambuzi ebyenjawulo okuli Queen Elizabeth , Source of the Nile , Kidepo National Park n'ebirala kubanga wankizo nnyo mu ggwanga ate nabamugobelele bangi .

Ab'ebyobulambuzi nga bali ne Kyabazinga William Nadiope

Ab'ebyobulambuzi nga bali ne Kyabazinga William Nadiope

Mugarra agenze mu maaso n'agamba nti waliwo ebintu ebikolebwa ekitongole kye byobulambuzi mu Busoga okuli okuzimba essomero elitendeka abaana erimanyiddwa nga Uganda Hotel and Tourism Training College (UHTTI) abaagala okukola mu wooteli, okuzimba wooteli emanyibwa nga Crested crane Hotel awamu ebiwemense Obuwumbi 90 kwosa nokuzimba Source of the Nile nebifo ebirala .

Ono yeyamye okwongera okukwatagana ne Kyabazinga okwongera okukulakulanya ebyobulambuzi mu Busoga wamu ne mugwanga.

Ab'ebyobulambuzi nga bali ne Kyabazinga

Ab'ebyobulambuzi nga bali ne Kyabazinga

Kyabazinga William Wilberforce Kadhumbula Nadiope Galuba akakasiza Minister nti mwetegefu nnyo okukwatagana ne Kitongole kye byobulambuzi okulaba nga bongera okukulakulanya ebyobulambuzi mu Busoga nemugwanga namwebaza olwokuyamba okukulakulanya ebifo ebyobulambuzi mu Busoga oli Source of the Nile kwosa nokuzimba wooteli enungi wamu ne Somero naye namusaba okulowooza ku kibira ekimanyibwa nga Bukaleeba kyagamba .

Tags: