OMUSAJJA omulala ow'e 13 poliisi gw'erudde ng'eyigga ku bigambibwa nti y'omu ku baalumba amaka g'omuwanika w'ekibiina kya NRM, ambasada Nekesa Oundo ne banyaga obuwumbi obusoba mu 2, naye akwatiddwa poliisi.
Omusajja ono amanyiddwa nga Pallaso, baamukwatidde ku Edward Street mu kibuga Masaka nga yaakagula ebintu ebiwerako omuli n'emmotoka empya ey'ekika kya Harrier Kawundo.

Enanga Ng'annyonnyola.
Mu bunyazi buno obwaliwo omwaka oguwedde e Bukasa mu munisipaali y'e Makindye mu Kampala, kigambibwa nti bwetabwamu abaserikale ba poliisi bana wamu n'abantu abalala era kati abantu 13 be baakakwatibwa nga ku bo 12, baasindikibwa ku limandi e Luzira, ng'okuwulira omusango bwe kugenda mu maaso.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga, ategeezezza nti Pallaso, banne baamulumiriza okudduka n'ekimu ku bisawo omwali ssente era ng'okuva olwo babadde bamuyigga.
Ayongeddeko nti mu kumukunya, ayogedde nga bwe yabba obukadde 120, era n'agulamu mmotoka empya obukadde 62, ennyumba ewedde obukadde 20, wooteri obukadde 10, poloti e Nabugabo Masaka obukadde 15 n'afuna n'edduuka ly'ebyamasannyalaze ku bukadde 15.