Omukama Ruhanga Owobusobozi Bisaka asabye bannakibiina kya NRM okuwagira enteekateeka za Pulezidenti Museveni ey'okulwanyisa enguzi

AKULIRA enzikiriza y'Obumu Omukama Ruhanga Owobusobozi Bisaka asabye bannakibiina kya NRM okuwagira enteekateeka za Pulezidenti Museveni ez'okulwanyisa obuli bw'enguzi kiyambe eggwanga okukulakulana..

Owoobusobozi ng'ali n'abagoberezi be
By Peter Ssaava
Journalists @New Vision

AKULIRA enzikiriza y'Obumu Omukama Ruhanga Owobusobozi Bisaka asabye bannakibiina kya NRM okuwagira enteekateeka za Pulezidenti Museveni ez'okulwanyisa obuli bw'enguzi kiyambe eggwanga okukulakulana...

Owoobusobozi ng'ali n'abagoberezi be

Owoobusobozi ng'ali n'abagoberezi be


Bissaka agambye nti abantu bangi abateereddwa mu ofiisi ez'enjawulo kyokka mu kifo ky'okutuusa empereza ku bantu, ate basalawo kulya nguzi ekiviirako emirimu okuzingama.
"Bannakibiina mmwe mulina okusooka okulwanyisa enguzi ate mugivumirire.

Kino kibeere ebimu ku buwanguzi pulezidenti Museveni bwe yasubizza nga amaze okuwangula akalulu ka 2026." Bissaka bwe yayongeddeko.
Owobusobozi okwogera bino yabadde akulembeddemu omukolo gw'okukuza olunaku lw'abaana mu nzikiriza y'Obumu.
Yayongedde nasaba abantu okuwagira ssaako okulonda pulezidenti Museveni n'ekibiina kya NRM mukulonda okwa 2026 kuba nti NRM etusizza empereza kubantu ab'enjawulo.

Abagoberezi bo Owoobusobozi

Abagoberezi bo Owoobusobozi


Emikolo gyaabadde ku kyalo Kyalubayinga mu ggombolola ye Muhororo mu disitulikiti ye Kagadi era nga baakulizaako emyaka  39 bukya Owobusobozi awa abakyala omukisa  ogw'okuzaala nga bano mubiseera.
Kigambibwa nti bano baali bamaze ebbanga nga tebazaala olw'okubeera nti baali baalogebwa.