Omulangira Wasajja asabye ababaka okusaba Gavt. eve ku ky’okuggyawo ettaka lya mayiro

OMULANGIRA David Kintu Wasajja afalaasidde ababaka ba Palamenti  okwongera okubanja gavumenti eya wakati okumalayo okuzza ebintu by’Obwakabaka bwa Buganda n’okuva ku kirowoozo ky’okuggyawo enkola y’ettakalya mayiro.

Omulangira Wasajja asabye ababaka okusaba Gavt. eve ku ky’okuggyawo ettaka lya mayiro
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Omulangira Wasajja

Bya Dickson Kulumba

OMULANGIRA David Kintu Wasajja afalaasidde ababaka ba Palamenti  okwongera okubanja gavumenti eya wakati okumalayo okuzza ebintu by’Obwakabaka bwa Buganda n’okuva ku kirowoozo ky’okuggyawo enkola y’ettakalya mayiro.

Wasajja okwogera bino yasinzidde Bulange-Mmengo bwe yabadde omugenyi omukulu, abantu okuva mu ssaza ly’e Bulemeezi okuyita mu magombolola gaabwe ag’enjawulo kwe baaleetedde oluwalo lwabwe ku Lwokubiri.

Agambye nti kiruma okuba nga kati emyaka giweze munaana nga gavumenti bye yeeyama okuddiza Obwakabaka, tebimalibwangayo.

“Emu ku ngeri gye muyinza okutandikirako ku nsonga z’ettaka eziriwo kwe kwongera okusaba gavumenti eya wakati emaleyo ebintu byonna ebibanjibwa Obwakabaka. Kiringa oli n’akuddiza emmotoka ate akatabo (Logbook) n’ekasigala mu mikono gye. Tetumanyi nsonga lwaki Bannaffe bakyagaanidde ebyapa by’ettaka ly’Obwakabaka,”. Wasajja bwe yagambye.

Gavumenti yatuuka ku nzikkiriziganya n’Obwakabaka okuzza ebintu byaayo mu 2013 era okuva olwo ebyapa 200 okuli embuga ez’enjawulo bye byakaddizibwa Obwakabaka kyokka bingi tebinnakyusibwa kuzzibwa mu linnya lya Bwakabaka.

 “Ebyapa ebisukka 300 tebinnazzibwa eri Obwakabaka era kino kye kimu ku bintu ebivuddeko enkaayana ku ttaka okweyongera ate waliwo erimu nga lyazibwayo eri Obwakabaka kyokka nga terikyusibwanga, akakiiko k’ettaka mu Uganda ne kasigala nga kagaba ettaka lino,” Omulangira Wasajja bwe yategezezza.

Wasajja era yeebazizza abaami ba Kabaka bonna abaawummudde obuwereeza ku magombolola bw’atyo n’abasaba okusigala nga bawereeza Kabaka waabwe mu biti eby’enjawulo.

Ababaka ba Palamenti okuva mu ssaza ly’e Bulemeezi nga bakulembeddwaamu Omubaka omukyala ow’e Luweero Brenda Nabukenya baweze okugenda mu maaso n’okulwanirira ensonga z’Obwakabaka okuli ettaka, engabanya y’ebyobugagga bw’eggwanga mu kyenkanyi n’endala.

Omulangira David  Wasajja Ng'ali  N'ababaka Ba Palamenti Okuva Mu Ssaza Ly'e Bulemeezi Abazze E Bulange Mmengo .

Omulangira David Wasajja Ng'ali N'ababaka Ba Palamenti Okuva Mu Ssaza Ly'e Bulemeezi Abazze E Bulange Mmengo .

Ye Omwami atwala essaza ly’e Bulemeezi nga litwalalimu disitulikiti okuli; Luweero ne Nakaseke, Ronald Mulondo ategeezezza ng’abantu b’e Bulemeezi bwe bali obumu nga buli nsonga yonna ey’enkulaakulana bagikolera wamu.

Yategeezezza era nga bwe balina ebibiina eby’enjawulo mwe beegattira.

Abatuuze okuva mu maggombolola okuli Bamunanika, Kalagala, Semuto, Kapeeka, Nnyimbwa, Wabusaana, Ziroobwe, Wakyato, Kamira, Katikamu, baleese ensimbi ezasusse obukadde 21 ng'oluwalo Ng’ababaka ba Palamenti (bonna baleese 5,000,000/-).