Wasajja ayogedde ku mbeera ya Kabaka

OMULANGIRA David Kintu Wasajja, ategeezezza Obuganda nti mukulu we, Ssaabasajja Kabaka wa Buganda gy’ali alamula Obuganda n’asaba abantu okusigala nga bakkakkamu.

Omulangira Wasajja
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OMULANGIRA David Kintu Wasajja, ategeezezza Obuganda nti mukulu we, Ssaabasajja Kabaka wa Buganda gy’ali alamula Obuganda n’asaba abantu okusigala nga bakkakkamu.
Wasajja yannyonnyodde nti Ssaabasajja mu kiseera kino ali Namibia awummuddeko n’asaba abantu okussa ekitiibwa mu mbeera Kabaka gy’alimu, baleme kusamwasamwa na bigambo bye batalinaako mutwe na magulu, ebityoboola ekitiibwa ky’Obwakabaka.
Wasajja okwogera bino, yabadde mu mboozi ey’akafubo ne munnamawulire wa Bukedde, n’avumirira abantu abazzebakozesa emikutu gya ‘Social Media’ okusaasaanya obulimba n’obukyayi ku Bwakabaka bwa Buganda n’abakulembeze baabwo, ekireese okukosebwa okw’amaanyi.
Wasajja w’aviiriddeyo, ng’abantu ab’enjawulo omuli ne bannabyabufuzi bazze beebuuza wa Kabaka gy’ali, oluvannyuma lw’okubula nga takyalabika ku mikolo emikulu mu Buganda omuli n’omukolo gw’amazaalibwa ge.
Obwakabaka nabwo buzze bunnyonnyola nti Kabaka ali mu nsi za bweru gy’ali mu
kujjanjabibwa, naye abantu ne basigala nga si bamativu, abamu ne batuuka n’okusaba bagende bamulabeko, nga bagamba nt  obutali bwerufu mu ngeri ensonga za Kabaka gye zikwatiddwaamu.
Wano Wasajja w’asinzidde n’agamba nti abantu ab’ekika kino tebalumirirwa Kabaka, era bagenderera kusiga nsigo za kwawulayawula mu Baganda n’okubakosa. Buli lunaku Wasajja yagambye nti afuna amasimu okuva mu bantu ab’enjawulo ab’obuvunaanyizibwa okwetooloola ensi, nga balaga obutali bumativu ku mawulire ag’obulimba agasaasaana ku Kabaka.
Wasajja era yakkiriziganyizza ne Ssentebe w’abavubuka mu Buganda, Baker Ssejjengo, eyafulumizza ekiwandiiko nga May30, 2024, n’alaga okwemulugunya eri abantu aboogera ku Kabaka b’agamba nti bakozesezza bubi eddembe lyabwe ery’okwogera,
bwe basazeewo okukyayisa abaddukanya Obwakabaka mu bantu naddala Abaganda, nga baagala beeyawuleyawulemu.
Ekisinga okwennyamiza Wasajja, kwe kuba ng’abantu abakulembeddemu enteekateeka
y’okutambuza obulimba abamu bakulembeze, abandibadde bakola ng’ekyokulabirako eri abantu be bakulembera, kyokka kati basazeewo kwawulayawula mu bantu.
Gye buvuddeko, Obwakabaka bwafulumya ekifaananyi kya Kabaka ng’ali ne muganda we Joseph Ndawula e Namibia, gye yagenda mu April. Omubaka wa Namibia e Germany, Martin Andjaba, bwe yali ayanukula ebbaluwa ya Munnayuganda omu eyawandiika ng’ayagala okumanya Kabaka ky’aliko e Namibia, yagamba nti Kabaka ali mu kufuna bujjanjabi mu ddwaaliro lya Okonguarri Psychotherapeutic Center mu kitundu ky’e Kunene e Namibia.
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga azze  ayombagana n’abantu abasusse
okusavuwaza n’okukozesa embeera ya Kabaka okuyisaawo ebyabwe, era bano abageraageranya n’abo abaggyawo Obwakabaka mu 1966. Wasajja yajjukizza Abaganda omugaso gw’okuba obumu, okusing’anamu ekitiibwa, okuwuliziganya obulungi, n’okulwanirira Namulondo