Omulabirizi w'Obulabirizi bw'e Namirembe, Moses Banja akubirizza abantu ba Buganda okukomya okwetundako ettaka kubanga Obuganda ttaka era omuntu omwavu y’oyo atalina ttaka.
Can. Banja mu kusaba
Ono abadde akulembeddemu okubuulira mu kusaba kw'okwebaza Katonda olwa Ssaabasajja Ronald Mutebi II okuweza emyaka 31 ng'ali ku Namulondo, okutegekeddwa ku lutikko e Namirembe.
Ono yennyamidde olw'abantu abasusse okusamwasamwa n’rbigambo naddala ku mikutu emigattabantu nga boogera ebigambo ebisasamaza era n'asaba abantu okuwa abalala ekitiibwa naddala nga beegendereza ebyo bye boogera ne bye bawandiika ku mikutu gino.
Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga.
Banja yeebazizza Kabaka olw'okuba omusaalemu mu kukumaakuma Obuganda n'okutumbula eby'obulamu ng'ayita mu misinde gya Kabaka Birthday Run.
Era akubirizza abantu ba Buganda ne Uganda okuba obumu n'okubeera abakozi kubanga ssaabasajja Kabaka kino ky’akubiriza obwakabaka olwo Namulondo n’esobola okubeera ey'amaanyi.
Omulangira Ssemakookiro mu kusaba.
Agenze mu maaso n’akubiriza abantu okulaba nga bakola ebyo ebisanyusa Kabaka beewale ebyo ebimunakuwaza kubanga obusanyufu bwa Kabaka bwe bulamu bwe.
Ekitundu kya bayibuli mu kusabira Ssaabasajja Kabaka kisimbuddwa kitabo kya 1 Petero 2:11-17 era kisomeddwa Nnaalinnya Dorothy Nassolo.
Omulangira Wasajja n'omuzaana Marion.
Ekitundu kino kikubirizza abantu okuwanga Kabaka ekitiibwa, nga kino kicamudde nnyo abantu abeetabye mu kusinza kuno.
Akulira oludda oluvuganya gavumenti, Joel Ssenyonyi n'omubaka Muwanga Kivumbi.
Okusaba kuno kwetabiddwako bannaddiini okuva mu nzikiriza endala okuli Supreme Mufti Galabuzi, Msg Charles Kasibante, Metropolitan Jeronymos Muzeeyi Ssaabasumba wa Basodookisi, Omulabirizi wa Central Buganda mu kkanisa y'Abadiventi Samuel Kajoba n'abalala.
Maama wa Buganda Nnaabagereka Slyvia Nagginda naye y'omu ku beetabye mu kusaba kuno.
Maama wa Buganda Nagginda mu kusaba.