Ssaabasumba w\essaza ekkulu erya Kampala akubirizza bannabyabufuzi okweyisa nga Edward Muteesa II bweyali yeeyisa ng'ali mu bukulembeze.
Omulangira Wasajja eyategese okusaba, mukyala we Marion Nankya ne Muwala wa Kabaka Nkinzi
Muteesa kyali kirabi Katonda kyeyali yawa eggwanga lyaffe wamu n'obwa Kabaka bwa Buganda kubanga kati emyaka 100 be ddu nga akyajjukirwa.
Maama Nnaabagereka naye abaddewo mu kusabira Sir Edward Muteesa
Bino by'ogeddwa mu kitambiro kya mmisa ekyategekeddwa Omulangira Daudi Wasajja okujjukira emyaka 100 egya Ssekabaka Edward Muteesa II
Ow'ekitiibwa Apollo Makubuya wakati naye abaddewo nnyo n'eyali omwogezi w'obwakabaka Ow'ekitiibwa Walusimbi
Kkwaya ng'eyimba mmisa