ABATAKA abali e Namibia baamaze essaawa ezisukka mu ssatu ku poliisi y’e Outjo okumpi n’ekifo Kabaka waali nga poliisi ebakunya. Bano baakwatiddwa Poliisi ku Lwokubiri olw’eggulo bwe baabadde bayisizza ekibuga Outjo okwolekera ekifo ekiyitibwa Okonguarri Kabaka gy’awummulidde kyokka poliisi n’ebasalako nga babuzaayo kkiromita 12 okutuuka Omutanda waali. “Tubadde nga tunaatera okutuuka
Kabaka waali ng’ebula nga kkiromita 4, poliisi n’etukwata. Tumaze essaawa nga ssatu ne batuta nga batugambye nti Katikkiro (Charles Peter Mayiga) ne Kintu Nyago ow’e Pretoria be bateekwa okutuwa olukusa,” Omu ku Bataka bwe yategeezezza Bukedde.
Ekyabayambye ensonga obutagenda wala n’okukunyizibwa ekisusse, kwe kulagayo empapula ze baafuna era ezibanjula ng’abakungu okuva mu Uganda, abali ku bugenyi obutongole e Namibia.
Ge twafunye gaalaze nti okutuuka okukwatibwa, bano baabadde bayise mu kifo awali ekipande ekiraga endagiriro y’ekifo Kabaka waali nga kyo kiri mu kkiromita 12. Wano beekubisirizzaawo n’ebifaananyi eby’enjawulo oluvannyuma ne beeyongerayo.
Nga boolekedde ekifo Kabaka waali, Poliisi we yabakwatidde era n’ebatwala ku kitebe kyayo e Outjo ekisangibwa mu pulovinsi y’e Kunene.
Abataka abaatuuyanidde ku poliisi kuliko okuli Eria Buzaabo Lwasi Lwomwa (Ndiga), Kyaddondo Kasirye Mbugeramula (Nvuma), Maweesano Deus Kyeyune Kukeera
(Ngaali), Kasujja Sheba Kakande Kibirige (Ngeye) saako Omutaka Natiigo Godfrey Katende nga ye Katikkiro w’ekika ky’Olugave.
Bano baava mu Uganda nga July 2, 2024 okugenda e Namibia nga baweze okuzuula n’okulaba Kabaka wonna waali ng’era bwe banaakomawo, baakubuulira abazzukulu
embeera Kabaka mw’ali. Kyokka nga June 18, 2024, ekiwandiiko Katikkiro Mayiga, ng’ali wamu n’Omukubiriza w’olukiik w’Abataka Kizito Mutumba Namwama
n’Omulangira David Wasajja, kyalaga nti amawulire gonna agakwata ku Kabaka, n’embeera y’obulamu bwe, gayitira mu ofiisi ya Katikkiro wa Buganda.
Abataka bano olwatuuka e Namibia, baategeezebwa abakulu ku kitebe kya Uganda e South Africa nga ky’ekitwala ne Namibia nga bakulembeddwamu Omumyuka wa Ambasada, Kintu Nyago nti kigenda kubeera kizibu okulaba Kabaka nga tebalina lukusa bwatyo n’abasaba basooke balufune. Baagenda n’enteekateekay’okumala e Namibia
ennaku ttaano kyokka baayongezzaayo obudde kubanga ekiruubirirwa kyabwe eky’okulaba Kabaka baalina okukituukiriza mu mbeera yonna.
OMULANGIRA WASAJJA ABAWABUDDE
Omulangira David Kintu Wasajja yayogedde ne Bukedde eggulo n’asaba Abataka bano okukomawo mu mirembe e Buganda, bave mu by’okukola ebintu ebyongera Kabaka situleesi. Wasajja yagambye nti kyabadde kikyamu Abataka okukozesa eryanyi okugenda okulaba Kabaka ne batuuka n’okukwatibwa Poliisi.
“Gw’oyagala okugenda okulaba yandibadde asiimye ate n’abasawo nga basiimye. Naye kizibu nnyo okulowooza nti omuntu yenna oyinza okuva eri ne weekaka okulaba omuntu atasiimye kukulaba,” Omulangira Wasajja bwe yagambye. q Yayongeddeko nti Abataka ng’ensulo y’ennono, bandibadde be balambika bazzukulu baabwe n’abantu ba Buganda okukuuma ennono egamba nti Kabaka asiima okulabikako eri n’abantu
abalala b’abeera ayagala okulaba.
“Kabaka amanyi nti wiiki nnamba bagimaze mu kibuga, singa yali waakubalaba, yandibadde yabalaba dda. Akimanyi nti weebali, tayagala kubalaba naye bbo balemeddeko.
Bayiseewo mu buntubulamu n’empisa z’Abaganda kubanga Ssaabasajja alina okuweebwa ekitiibwa.” q Ku ky’Abataka okufuna olukusa okuva e Mmengo, Wasajja yagambye nti tasuubira nti balwetaaga kubanga singa kituufu nti balwetaaga, baalina kuva Kampala nga balufunye okusinga okulinda balusabe nga batuuse e Namibia! “Kirungi abantu bonna bamanye nti bano we batuuse kati bakyewaggula naye tubasaba bakuume ekitiibwa ky’Abataka, bakomewo mu mirembe nga tebongedde kusasamaza bantu ate n’omulwadde waffe okumwongera situleesi,” Wasajja bwe yasabye Abataka bave mu ky’okusaba olukusa okulaba Kabaka wabula bakomewo e Uganda. q Wasajja eyabadde omukkakkamu kyokka ng’asimba ensonga, yagambye nti Abataka bano baakoze kikyamu okweteeka mu mbeera ejeera obukulembeze bw’Obwakabaka obukulemberwa Katikkiro ate n’obutassa kitiibwa mu kulambika okwaweebwa Omutaka Namwama kw’ebyo bye baalina okugoberera ssaako n’obutagondera kwogera kwa Kabaka kwe yakola nga July 1, 2024. Ye Katikkiro Mayiga bwe
yabadde ayogerako eri abaami b’eggombolola zonna mu Buganda eggulo ku kizimbe Muganzirwazza e Katwe mu Kampala, yalabudde abo abaagala okufuula Kabaka ng’akapiira okuggusa ensonga zaabwe.
Yakyukidde n’abo abalaga obwagazi obungi eri Kabaka kyokka ne bakomekkereza nga boonoonye ekitiibwa kye nga batwalirizibwa! “Temukkiriza obwagazi bw’enswa kubaliisa obuggalamatu.
Akitegedde kubira Mukama mu ngalo. Enswa nga yawoomera Omuganda naye talya buggalamatu naye bw’oba owoomululu olya buggalamatu. Mujjukira Kabaka ng’atulabula ku mululu. Obuggalamatu oluusi e Buddu babuyita bumpowooko,” bwe yalabudde.
Yasabye abaami babuulire abo be batwala ekituufu ekifa embuga n’okubalambika ku mbeera y’obulamu bwa Kabaka nga bw’eyimiridde. Abaami bano, Mayiga yabasabye okwewala ebyobufuzi ebyawulayawula mu bantu wadde baliko be bawagira kubanga Kabaka wa bantu bonna. Abantu abalala abaayogeddeko ne Bukedde mu ngeri y’obutayagala kwatuukirizibwa mannya, baasabye Abataka bano okuwa Kabaka ekitiibwa, bagendere ku bubaka bwe yategeeza nti mu kiseera ekitali kya wala ajja kudda mu Uganda, gye babeera bamulindira era beewale okukozesebwa bannabyabufuzi.