Bya Ivan Wakibi
ABADDE omulangira w’essaza Kigulu e Iganga erimu ku masaza ataano agakola Obwakyabazinga, Patrick Izimba Gologolo eyafa wiiki ewedde aziikidwa ku biggya bya bajjaja be ku kyalo Nasuti mu ggombolola Nambaale e Iganga.
Omugenzi yaziikidwa eggulo. Okuziika kwetabiddwaako bannabyabufuzi n’abakulembeze b’ennono ab’enjawulo mu Busoga n’awalala.
Pulezidenti Museveni eyabadde omukungubazi omukulu yakiikiridwa Katikkiro asooka era minisita w’amawanga g’ebuvanjuba Rebecca Kadaga eyawaddeyo amabugo ga bukadde 30.
Museveni yasaasidde Obwakyabazinga n’abatuuze mu ssaza Kigulu olw’okufiirwa omuntu abadde owoomugaso mu kitundu mu byenkulaakulana n’ensonga z’ebyobuwangwa.
Ate Katikkiro w’Obwakyabazinga, Dr. Joseph Muvawala eyakiikiridde Kyabazinga Gabula Nadiope yannyoleddwa olw’okufiirwa omugenzi nti kubanga abadde musaale ku byokutebenkeza Obwakyabazinga ekitali ku balangira balala.
Muvawala yagambye ntu nga yaakalondebwa ku Bwakatikkiro balangira banne baabaga ekiwandiiko ekimugoba wabula n’alemesa enteekateeka eno ku lw’obulungi bw’okwegatta kwa Busoga.
Wabula Muvawala yalaze obutari bumativu olw’abamu ku balangira mu kitundu abaatwala omugenzi ku mawulire nga basaba obuyambi bw’obujjanjabi nti kyatyoboola ekitiibwa ky’omugenzi n’Obwakyabazinga.
Ono yannyonnyode nga bwe baafuba okujjanjaba omugenzi obulwade bwa kookolo obwamusse nti kyokka ne birema .
Okuziika kwetabiddwaako baminisita okwabade ow’ensonga z’obwapulezideni; Milly Babalanda, Kasule Lumumba, Fred Kyakulaga (Byabulimi) n’ababaka ba palamenti ab’enjawulo.
Kwabaddeko n’abakulembeze b’ekibiina kya NUP abaakulembeddwa Ssaabawandiisi waabwe, Lewis Davis Lubongoya n’alaga okunyolwa olw’okufiirwa omuntu gwe baagambye abadde yeebuuzibwako ku nsonga ez’enjawulo.