Bya Henry Kasomoko
ABAFFAMIRE ya Enock Sserunkuuma bagenze mu ggwanika e Mulago ne baggyayo omulambo gwe mu kyama ne bagukukusa okutuuka e Semuto gye gwaziikiddwa ku mukolo ogw’ekimpoowooze.
Omulambo gwa Sserunkuuma gubadde gukuumibwa mu ggwanika e Mulago okuva February 25, 2023, abantu lwe baamutaayiza e Lungujja ne bamutta mu ngeri y’okwesasuza olw’okutemula Lwomwa Ying. Daniel Bbosa.
Ensonda zaategeezezza nti abaffamire baatuukiridde abakozi ku ggwanika mu kyama ne beeyanjula era ne basaba omulambo gw’omuntu waabwe.
Omu ku bakozi ku ggwanika eyasabye amannya ge okusirikirwa yategeezezza Bukedde nti ku bazze kwabaddeko n’omukyala omukulu eyasoose okugaana okwennyonnyolako ebimukwatako wabula ab’eggwanika oluvannyuma lw’okusoya abaffamire kajogijogi w’ebibuuzo kyategeerekese nti ye yabadde nnyina w’omugenzi.
Bwe baakwasiddwa omulambo gwa Sserunkuuma, abaffamire baawandiise nti baabadde bagenda kuziika mu bitundu by’e Busunju era baapangisizza kkampuni enziisi okubanguyiza enteekateeka z’okutambuza.
Bambega ba Poliisi abaalondodde entambula zaabwe balaze nti tebaatuuse Busunju wabula baasalinkirizza ne baggukira e Semuto gye baaziise