ENTEEKATEEKA z’okuziika abafumbo David Mutaaga ne mukazi Deborah bikyakalubye oluvannyuma lw’abaana baabwe ababi i be baazaala, okuyimiriza eby’okujja mu ggwanga nga batya nti omutemu eyatta bakadde baabwe, nabo ayinza okubatuusaako obulabe.
Ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde, Isabel Nagitta Mutaaga ne mwannyina Mark Ernest Kabenge Mutaaga, baayogerako eri abakungubazi mu kusabira emyoyo gy’abagenzi ku Lutikko ya All Saints e Nakasero, nga bayita ku mu nkola ya ‘zoom’. Baatendereza okwagala n’okufaayo bakadde baabwe kwe baabalaga okuviira ddala mu buto, okutuusa omutemu lwe yabaggye mu bulamu bw’ensi eno. Omu ku banoonyereza ku ttemu lino, yategeezezza nti baafunye ekiragiro okuva eri abaana b’abagenzi nga babalagira ebisumuluzo by’ennyumba mwe battira bazadde baabwe, babikwase bannamateeka, be
baawadde obuyinza okusigala nga baddukanya emmaali yaabwe sso si baaluganda.Bino we bijjidde nga poliisi enoonyereza ku mutemu agambibwa okuba n’akakwate ku
ffamire z’abagenzi. Kino kyaddirira omu ku baali bayamba ku bagenzi awaka okutegeeza poliisi nti Deborah bwe yabakubira essimu nga babalumbye, baawulira
omutemu ng’amugamba nti, “Nzize kukutta wadde weekubya obusimu, mulowooza mmwe mwekka abaazaala abaana era nti mmwe mwekka abalina okubeera obulungi ffe tetwazaalibwa?” Kigambibwa nti siteetimenti za bano, ze zimu ku zivuddeko abaana okuyimiriza eby’okudda mu Uganda, okwetaba mu kuziika wadde ng’abamu ku baffamire bakyabeegayirira bajje baziike. Ensonda zaategeezezza Bukedde nti, abaana baasuubizza okujja singa poliisi ekwata abatemu n’eboogeza ekyabassizza bakadde
baabwe mu ngeri ey’ettima.
Kino kyayongedde okuleetawo ebibuuzo n’okwoleka emiwaatwa mu nkolagana y’abagenzi n’abamu ku ba ffamire zaabwe. Mu kusaba okwakulembeddwamu Rev.
Canon Dr. Rebecca Nyegenye, yabasabye okwekwata Katonda kuba ye yekka atayiwa era n’abasaba obutawoolera abo abaabattidde bazadde baabwe.
Mwannyina wa Kabaka, Lubuga Agnes Nabaloga, naye yeetabye mu kusaba kuno. Ng’ayita mu ssentebe w’ekibiina kya Bumu Art Gallery, James Kyazze, yagambye
nti David Mutaaga, abadde omu ku bammemba baabwe era
mujjumbize ennyo. Yagambye nti baakumusaalirwa olw’amagezi g’abadde abawa n’engeri gy’abadde akwatamu obudde buli lwe babaddenga basisinkana. Dr. Edward Kayondo ne Ssansa Mugenyi, eyakiikiridde ssentebe w’abaasomerako mu masomero
ga Budo Junior ne Kings College, yagambye nti tebaakoma kusoma na mugenzi, wabula kitaawe, Ernest Kibirige, ye yali heedimansita waabwe mu biseera ebyo. Omu ku ba ffamire ya Deborah, yategeezezza nti eky’okuttibwakwa muwala waabwe ne bba
kyabakubye wala kuba ne kitaawe omugenzi Rehoboam Lume Kisadha, eyali akola mu kkampuni ya Nytil, naye bwatyo bw yattibwa ebyembi ne gye buli eno, omulambo gwe, teguzuulibwanga.
Enteekateeka z’okuziika tezinnakakasibwa ba ffamire. Wabula Grace Nyiringabo, ku lwa ffamire, yasabye abantu okussa ekitiibwa mu bagenzi nga bwe balindirira poliisi okuwaayo lipoota y’okunoonyereza. Elizabeth Nanteza Nabeeta, yagambye nti enteekateeka z’okuziika zigenda mu maaso, n’asaba obukkakkamu. Yagasseeko
nti, muwala we Deborah, yali muwulize okuva mu buto era nga mukozi nti kye kyamuyamba bba Ambasada Stephen Nabeeta, okumusemba n’atwalibwa mu kibuba
Paris ekya Bufalansa, okubeera ne kitaawe omuto Ambaasada David K. Nabeeta. Okwawukanako n’abalala, aba kkampuni ya A-Plus Funeral Service baaleese bifaananyi mu kusabira abagenzi, wadde nga poliisi yamala dda okubakwasa emirambo gyabwe.