Bya Meddie Musisi
OMULAMBO gwa Dr. Aggrey Kiyingi gwatuukidde mu miranga n’okwaziirana okuva mu booluganda lwa mukyalawe Maimuna Nakayiira. Bbo abooluganda lwe (Kiyingi) wadde abaana be abakulu be yazaala mu mugenzi Robinah Kiyingi Kayaga tebaalabiseeko, ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe.
Omulambo gwa Kiyingi gwaggyiddwa mu nnyonyi ya United Emirates eyatonnye ku kisaawe e Ntebbe eggulo ku ssaawa 8:00 ez’emisana ne gukwasibwa aba kkampuni ekola ku by’okuziika eya A-Plus. Nnyazaala wa Kiyingi, Hajjat Rehema Nankumbi azaala Nakayiira ne baganda be baabaddewo nga Nakayiira atuuka n’omulambo gwa bba n’abaana baabwe ababiri.
Mu kusooka waabaddewo okutaataaganyizibwa eri Nakayiira ng’abeebitongole by’ebyokwerinda ku kisaawe baliko bye bamubuuza era yamazeeyo akaseera. Wabula omu ku booluganda yagambye nti Nakayiira yabadde ayagala bayitire mu mulyango oguyitibwamu abakungu ekintu abeebyokwerinda kye baagaanye nga bagamba nti baabadde tebaategezeddwaako ku nteekateeka eno.
Oluvannyuma abaserikale bakkiririzza maama wa Nakayiira ne bagandabe ne bayingira munda awatuukirwa ababa baakadda okuva ebweru w’eggwanga ne bamuyambako ku migugu gye n’egy’abaana be ku bugaali ne bafuluma ne balinnya emmotoka ezaabadde zibalindiridde ne boolekera Kampala.
Omulambo gwa Dr. Kiyingi gumaze wiiki ssatu mu ggwanika mu Australia gye yafiira. Mu kusooka waliwo enkalu ku ky’okumuzza wano nga kigambibwa nti waliwo abanene mu gavumenti abaali bakiwakanya nga baagala aziikibweyo. Wabula maama wa Nakayiira yagambye nti muwala we yakoze kinene okulaba ng’omulambo gwa bba gukomezebwawo kuno asobole okuziikibwa ku butaka.
Ensonda zaategeezezza nti Minisita w’ensonga z’omunda Gen. Kahinda Otafiire naye yakoze kinene okulaba ng’omulambo gwa Dr. Kiyingi gukkirizibwa okudda.
Mu kiseera kino omulambo gwe guli mu Lutikko e Namirembe okusabira abasigaddewo n'okusiima emirimu gye.