Bya Meddie Musisi
ABAKUNGUBAZI abaakuhhaanidde ku Lutikko e Namirembe okwebaza emirimu egikoleddwa omugenzi Dr. Aggrey Kiyingi bawuniikiridde abaana be abana abakulu bwe bataalabiseeko.
Abakungubazi baasoose kulowooza nti osanga bazze mu kasirise mu kusaba kuno ne batuula mu ntebe ez’emabega. Wabula byabaweddeko, eyabadde kalabaalaba w’omukolo bwe yayise bamulekwa okuganzika ekimuli ku ssanduuko omuli omubiri gwa kitaabwe, abaana ba Kiyingi abato abazaalibwa Maimuna Nakayiira Kiyingi be bazze n’abooluganda abalala abaabawerekeddeko.
Bano bwe baamaze okuganzika ekimuli nnamwandu Nakayiira eyabadde mu gomesi enzirugavu ng’ali ne mukulu we, Aisha Nakasibante ne baddako.
Nakayiira bakira asibye masiki ku nnyindo n’emimwa nga ku maaso ayambadde gaalubindi enzirigavu nga ku mutwe ayambadde enkoofiira nga ne mu ngalo ayambaliddemu enkampa enzirugavu. Omulabirizi w’e Namirembe agenda okuwummula Wilberforce Kityo Luwalira ye yakulembeddemu okusaba okwabaddewo ku Mmande era nga yasoose kusiima gavumenti ya kuno n’eya Australia olw’okukwataganira awamu okusobola okuzza kuno omulambo gwa Dr. Kiyingi.
Yayogedde ku mugenzi ng’omusajja abadde atya ennyo Katonda okuva lwe yasooka okumusisinkana nga bombi balenzi bato. Yagambye nti yamulabamu ekitone olw’obugezi bwe n’agamba nti teyeewunya ng’asomye okulongoosa emitima gy’abantu.
Bp. Luwalira yakubirizza abakungubazi okudda eri Katonda n’abagamba nti y’asinga okulongoosa emitima emirwadde.
Aba ffamire ya Dr. Kiyingi abasobye mu 20 nga baakulembeddwaamu Ssebowa Kagulire beetabye mu kusaba kuno ne basiima nnamwandu Nakayiira olw’okulabirira obulungi muganda waabwe. Bagambye nti Dr. Kiyingi bwe yafuna ebizibu oluvannyuma lw’okufiirwa mukaziwe omukulu, Robinah Kayaga n’afuna Nakayiira n’amusangula amaziga.
Rachael Nantumbwe Ssebowa mukulu wa Kiyingi yategeezezza nti omugenzi abadde ayagala nnyo abantu abekika kyonna.
Mukwano gwa Kiyingi Steven Musoke Kiwanuka era eyasoma naye yamwogeddeko ng’omusajja abadde alina omukwano ate ng’ayagaliza.
Nnamwandu Nakayiira yayogedde ku mukwano gwa bba n’agamba nti baasisinkana alina emyaka 19 ng’asoma ku yunivasite e Makerere nti we yamusabira omukwano yamutegeeza nga bw’alina ennaku ku mutima naye kwe kukkiriza okugimunaazaako.