Dr. Aggrey Kiyingi w’afiiridde nga y’omu ku Bannayuganda abagagga ffugge abalina ssente ezivuluuja!

Dr. Aggrey Kiyingi w’afiiridde nga y’omu ku Bannayuganda abagagga ffugge abalina ssente ezivuluuja!

Abamu ku bamulekwa ba Kiyingi ne nnamwandu (ataddeko gaalubindi). Ku ddyo (omuto atali mu kkooti) ye musika.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Dr. Aggrey Kiyingi #Australia

Dr. Aggrey Kiyingi w’afiiridde nga y’omu ku Bannayuganda abagagga ffugge abalina ssente ezivuluuja!

Ssente ze, Dr. Kiyingi azikoze mu Australia gy’abadde yasimba amakanda okuva lwe yagendayo mu 1982 nga yaakava ku yunivasite e Makerere gye yasoma obwadokita.
Mu myaka 41 gy’amaze mu Australia okutuuka lwe yafudde nga September 30, 2023, Dr. Kiyingi yakola ssente empya n’enkadde n’agula ebizimbe n’ettaka n’okutandikawo eddwaaliro erijjanjaba n’okulongoosa eddwadde z’emitima.

Wadde nga Dr. Kiyingi yafuna ebizibu by’omusango ku ttemu eryakolwa ku mukazi we Robinah Kayaga mu 2005 ogwamukomya ewala ennyo n’afiirwa ssente nnyingi n’ebyobugagga bye ebimu naddala mu Kampala ne bimunyagibwako ng’ali mu kkomera, ekyo tekyamulobera kwongera kukola ssente bwe yejjeerezebwa omusango mu 2006 n’addayo e Australia

EKIRAMO KYA KIYINGI

Ensonda mu ffamire ya Kiyingi zaategeezezza nti emmaali ye agirekedde mukazi we omuto Maimuna n’abaana abato bana.

Mu byobugagga Kiyingi by’alekedde Maimuna Nakayiira, mulimu amaka gaabwe mwe babadde babeera agasangibwa ku ndagiriro 3 Kingussie Avenue Castle Hill 2154 Sydney mu kibuga Sydney mu Australia.

Omu ku mikwano gya Dr. Kiyingi abadde atera okwogera naye nga n’olumu agenda n’abakyalirako yategeezezza Bukedde nti Dr. Kiyingi abadde alina ennyumba ssatu e Sydney era zonna yazirekedde Nakayiira n’abaana be.

Yagambye nti ku ntandikwa y’omwaka guno, Dr. Kiyingi yatuuza Nakayiira ne bannamateeka be abali mu Australia n’abawa ekiragiro ekikyusa emmaali ye kumpi ebitundu 70 ku buli 100 babiteeke mu mannya ga Nakayiira n’abaana be ababiri b’abadde yaakamuzaalamu okuli omulenzi n’omuwala.

Amaka Ga Dr. Kiyingi Mu Australia.

Amaka Ga Dr. Kiyingi Mu Australia.

Amaka ga Dr. Kiyingi mu Australia.

Mu by’obugagga ebirala Dr. Kiyingi by’alekedde Nakayiira mulimu;

l Eddwaaliro eriyitibwa Merrylands Cardiology Services erisangibwa ku ndagiriro Suite 10 258 Merrylands mu ssaza lya New South Wales mu Australia.
Muno ebiwandiiko byakolebwa nga Nakayiira n’abaana be balinamu emigabo.

l Yiika z’ettaka 20 ezisangibwa e Nabusanke ku luguudo lw’e Masaka nga kuno kuliko n’ennyumba ey’amaka.

l Yiika z’ettaka 7 e Mukono kw’abadde amuzimbira amaka galikwoleka.

l Ensonda zaategeezezza nti waliwo n’ettaka Dr. Kiyingi ly’abadde yaakamugulira mu bitundu by’e Gomba kw’abadde ateekateeka okumuteera ffaamu.

l Mu byobugagga ebirala Kiyingi by’alese mulimu, poloti 48,141,142,35, nga ziri ku bbuloka 273, ssaako endala poloti 23, 25, ne 27 ku bbulooka 158B e Namulonge mu Wakiso.

Ensonda zaategeezezza nti erimu ku ttaka lino liriko enkaayana kyokka Kiyingi yalese alaze Nakayiira balooya abagenda okumuyambako okubitereeza.

l Waliwo ebyobugagga bya Kiyingi ebyali kuno ebyatundibwa ku nnyondo nga byali bibaririrwamu obuwumbi bwa ssente nga butaano.

l Dr. Kiyingi ye yali nnannyini kkampuni ya Dhehezi International, emu ku kkampuni ezaasooka okutuusa kuno kompyuta.

Mwannyina wa Dr. Kiyingi, Rachael Nantumbwe bwe yabadde ayogera eri abakungubazi mu kuziika ku Lwokubiri e Busukuma - Namulonge, yagambye nti mwannyina yamulaamira nti mutabani wa Nakayiira omuto ow’emyaka 7 y’amusikiranga.

Kino kyakoleddwa amangu ddala ng’abakungubazi baakava e magombe omwana ono Aggrey Kiyingi Jr. n’alagibwa eri abantu era omulabirizi w’e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira n’amusabira.