Bya Hannington Nkalubo
WABALUSEEWO okusika omuguwa wakati wa Gavumenti ya Australia n’aba ffamire ya Dr. Aggrey Kiyingi ku kuzza omulambo gwe.
Abakungu ba Gavumenti n’emikwano gy’omugenzi mu ggwanga eryo babadde baagala Dr. Kiyingi aziikibwe eyo okwongera okumulaga omukwano nga bamuziika mu bitiibwa n’okubimuwa wadde afudde.
Baawadde ensonga nti Dr. Kiyingi abadde munnansi waabwe amaze emyaka egisoba mu 20 ng’akolera mu ggwanga eryo okujjanjaba abalwadde.
Ataasizza obulamu bw’abantu bangi omuli n’abakulembeze b’amawanga agenjawulo ssaako abagagga n’abasuubuzi abanene.
Kyokka okumalawo okusika omuguwa ffamire ya Kiyingi esindise abantu babiri bagende bakwatagane ne nnamwandu ssaako abamu ku baana ba Dr. Kiyingi bakole ku by’okumuzza.
Muganda wa Dr. Kiyindi ayitibwa Kagulire Ssebowa yagambye nti mu mbeera yonna omulambo gwa Dr. Kiyingi bagenda kugukomyaawo era emitendera baagitandise dda kyokka nga kiyinza okutwalako akabanga okutuuka mu ggwanga era basazeewo basooke balindeko okukuma olumbe okutuusa ng’emitendera gyonna giwedde.
Ku Lwokusatu, olukiiko lwa ffamire lwatudde ne bongera okuttaanya ku nteekateeka zonna ez’okuzza omulambo.
Maama wa nnamwandu wa Dr. Kiyingi ayitibwa Rehema Nayiga yategeezezza nti abantu babiri baasitudde okwegatta ku nnamwandu battaanye ku by’okumuzza wadde nga n’aba Gavumenti ya Australia babadde baagala bamuziikeyo.
Yagambye nti mu bulamu , Dr. yagamba nti akomezebwewo mu ggwanga aziikibwe okumpi n’ennyina kyokka n’ateekamu akawaayiro nti singa wabeerawo okutawaanyizibwa mu kuzza omulambo gwe basobola okumuziika e Australia.
Yagambye nti tebannaba kufuna kutaataaganyizibwa kwonna era basuubira nti buli kimu nga kiwedde omulambo bagenda kugukomyawo aziikibwe e Busukuma okumpi ne Gayaza.
Dr. Kiyingi yafa gye buvuddeko obulwadde bwa puleesa.
Omulambo gwe gwatwaliddwa ne gwekebejjebwa abasawo abakugu era lipooti ekwata ku bulwadde obwamuviirako okufa , nti yafulumye kyokka aba ffamire bakyagikuumye
nga ya kyama.
Nayiga yagambye nti abasawo bagenda kugisoma ng’ omulambo guleeteddwa nga byonna biwedde era n’ebbaluwa ekakasa okufa kwe nayo yakolebwa dda.
Dr. Kiyingi abadde kafulu mu kujjanjaba endwadde y’omutima era abakungu n’abanene babadde bava mu mawanga gaabwe okugenda gyali n’abajjanjaba ne bawona.
Mu bamu ku bajjanjabye mwemuli n’eyali pulezidenti wa America, Jimmy Carter ng’abadde ayimiriddewo ku bukugu bwa Dr. Kiyingi era aba ffamire ye baaweerezza obubaka obukubagiza aba ffamire ya Dr. Kiyingi okufiirwa omuntu abadde ow’omugaso ennyo eri ensi yonna.
Nnamwandu Nakayiira gwabadde abeera naye mu kibuga Sydney ekya Australia ye yabika bba Kiyingi nti afudde.
Yafa kibwatukira nti n’abalwadde abamu yabaleka mu ddwaaliro lye nga bamulinzeokubajjanjaba kubanga teyali mulwadde.