Baleese abaana abalala mu kuziika Dr. Kiyingi

ABAANA abalala babiri be baleeteddwa mu kuziika Dr. Aggrey Kiyingi e Busukuma - Namulonge mu Wakiso.

Ekyabadde mu kuziika Dr Aggrey Kiyingi e Namulonge mu ggombolola ye Busukuma
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABAANA abalala babiri be baleeteddwa mu kuziika Dr. Aggrey Kiyingi e Busukuma - Namulonge mu Wakiso.
Abaana bano nga bawala, be bamu ku bamulekwa ba Dr. Kiyingi era baayanjuddwa mu kuziika. Abaana abakulu abaazaalibwa omugenzi Robinah Kayaga Kiyingi bonna tebaalabiseeko, nga kigambibwa nti baaweerezza obubaka obwetonda olw’obutasobola kubeerawo mu kuziika kitaabwe.
Abakungubazi beeyiye mu bungi ku mukolo ogwasoose n’okusaba okwakulembeddwa Omulabirizi w’e Namirembe eyawummula Bp. Samuel Balagadde Ssekkadde nga kigambibwa nti Dr. Kiyingi gwe yalaamira okusaba. Omulabirizi w’e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira naye yeetabye mu kuziika ssaako bannaddiini abalala.
YALAAMIRA MUTABANI WE OMUTO
Oluvannyuma lw’okuziika, mwannyina wa Kiyingi gw’abadde addako, Rachael Nantumbwe Ssebbowa ye yayogedde ku lwa ffamire ya Kiyingi n’ategeeza abakungubazi nti mwannyina yamulaamira nti bw’afanga, mutabani we omuto Aggrey Kiyingi Jr 7, alagibwanga eri abantu ng’omusika we.
Yasiimye nnamwandu Mayimuna Nakayiira gwe yayogeddeko ng’omuntu awadde mwannyinaabwe emirembe okuva lwe yafuna ebizibu by’okufiirwa mukazi we omukulu ekyavaako n’okumusiba.
Mukulu wa Kiyingi, Ronald Sserunkuuma yagambye nti muto we abadde alina omukwano ogutasangika eri buli muntu. Wabula muto wa Kiyingi era munnabyabufuzi, Kagulire Ssebbowa bwe yakutte omuzindaalo yasoose kutegeeza nti mukulu we (Kiyingi) abadde alina ekifundikwa kya kitaabwe, omugenzi Ssebbowa n’atangaaza nti ekyo omwana we gwe yalonda okumusikira si y’alina okukikwasibwa.
BANNABYABUFUZI BEEPENYE OKUZIIKA
Omukulembeze wa NUP Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) y’omu ku bannabyabufuzi abatono ennyo abeetabye mu kuziika Kiyingi.
Bobi yategeezezza abakungubazi nti Dr. Kiyingi abadde alina omutima ogulumirirwa okununula Bannayuganda.
Mu balala abaabaddewo, kwabaddeko; Dr. Lulume Bayiga ne Samuel Lubega Mukaaku.
Ye nnamwandu Mayimuna Nakayiira yagambye nti agenda kusubwa nnyo omukwano gwa Kiyingi kubanga okuva lwe yamufuna abadde tamujuza mu buli kimu.