Amawulire

OMUKOLO gw'okusiibula n'okutereka abadde Ssaabalangira Godfrey   Musanje Ngobe gugenda mu maaso mu Makaage e Kasawo

OMUKOLO gw'okusiibula n'okutereka abadde Ssaabalangira Godfrey   Musanje Ngobe gugenda mu maaso mu Makaage agasangibwa ku kyalo Kitegula e Kasawo mu ssaza ly'e Kyaggwe. 

Katikkiro ng'atuuka ku mukolo gw'okusiibula Ssaabalangira
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

OMUKOLO gw'okusiibula n'okutereka abadde Ssaabalangira Godfrey   Musanje Ngobe gugenda mu maaso mu Makaage agasangibwa ku kyalo Kitegula e Kasawo mu ssaza ly'e Kyaggwe. 

Abakungubazi ku mukolo gw'okutereka Ssaabalangira

Abakungubazi ku mukolo gw'okutereka Ssaabalangira

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yegasse ku bakungubazi enkuyanja abazze okuwerekera omugenzi Ono eyavudde mu bulamu bwensi ku lwokubiri nga yafiridde mu ddwaliro e Kamwokya e Kampala gyeyali atwaliddwa. 

Omubiri gw'omugenzi Ssaabalangira Godfrey   Musanje

Omubiri gw'omugenzi Ssaabalangira Godfrey   Musanje

Mu bakulu abalala abali ku mukolo guno ye Minisita Omubeezi  owa Tekinologiya mu gavumenti eyawakati, Joyce Juliet Nabbosa Ssebuggwawo, Baminisita ba Buganda Dr. Anthony Wamala ow'ebyobuwangwa, Noah Kiyimba ow'Abagenyi ne Kabineeti, David Kisitu Mpanga ow'ebyettaka n'Abakulu abalala. Olw'okuba nti abadde  Ssalongo agenda kuterekebwa ku ssaawa kkumi.

Tags: