Mu zzooni ya Kibira cell "A" e Masajja ku luguudo lw'e Busaabala, abaserikale ababadde mu ngoye za bulijjo, bawaliriziddwa okukuba amasasi mu bbanga okutangira ekibinja ky'abavubuka, abaabadde, babalemesa okukwata munnaabwe.
Kigambibwa nti abaserikale bano aba Flying squad okuva ku poliisi e Katwe, baabadde baliko gw'e bakimye nti kyokka abavubuka ne bagezaako okubataayiza, kwe kukuba amasasi mu bbanga agaabunyizza abantu emiwabo, nabo, ne babulawo nga tebamukutte.
Ssentebe wa LC 1 mu kitundu ekyo, Wasswa Luwandagga, alabudde abantu okwewala okusosonkereza abaserikale nga balina emmundu nti kuba, kyabulabe.