OLWALEERO lwe lukomekkerezza okufulumya Pass PLE Mocks wa Bukedde era nga tusembezzaayo essomo lya English.
Ansa z’ekigezo kino zijja kufulumira mu Bukedde wa Mmande nga September 1, 2025, oluvannyum Bukedde waakuddamu kufulumya Pass PLE buli lwa Mmande n’Olwokuna.
Akulira Bukedde, Michael Mukasa Ssebbowa yategeezezza nti ng’oggyeeko Pass PLE, Bukedde era erina entegeka z’okuddamu okutegeka empaka za Quiz mu wiiki esooka eya October.
Mu nkola eno baleeta abayizi okuva mu masomero ag’enjawulo ne bakung’aanira mu kifo kimu ne babuuzibwa ebibuuzo nga bwe babiddamu.
Yakubirizza abazadde n’abasomesa okugenda mu maaso ga bagula akatabo ka Bukedde naddala owa Mmande n’Olwokuna abeeramu Pass PLE, ng’agula 1,000/- zokka.