Abali ku gw’okuttta ddereeva wa loole bavunaaniddwa

ABASAJJA 4 abagambibwa okutta ddereeva wa loole n’omukazi gwe yali atwalakoN bavunaaniddwa ne basindikibwa ku alimanda.

Ssemakula omu ku bavunaanibwa
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABASAJJA 4 abagambibwa okutta ddereeva wa loole n’omukazi gwe yali atwalakoN bavunaaniddwa ne basindikibwa ku alimanda. Herbert Ssemwogerere, 33, John Bosco  semakula, Erieza Nkuubi, 27, ne Julius Sserunjogi, 30, baasomeddwa emisango 6 okuli okubbisa eryanyi n’obutemu. Babadde mu maaso g’omulamuzi Hope Bagyenda mu kkooti e Nakasongola.
Omuwaabi wa Gavumenti, Sandra Nakayazi yategeezezza nti abawawaabirwa emisango baagizza nga August 12, 2025 bwe baaluka olukwe mwe battira ddereeva wa loole, Roland Kitandwe eyali amanyiddwa nga Abdu wamu n’omukazi gwe yali atwalako, Hellen Ambu 70. Omulamuzi yabasindise mu alimanda okutuusa nga September 11, 2025