Omubuulizi w'enjiri okumpi n'ekikuubo mu kampala aguze mmotoka mu ssente z'abadde asolooza eweereze mukama

OMUBULIZI w’enjiri y’oku luguudo aguze mmotoka loole Fuso mu ssente z’abadde akung’aanya mu bantu n’agireeta okugibalaga okubakakasa nti tazikumpanyizza.

Omubuulizi w'enjiri okumpi n'ekikuubo mu kampala aguze mmotoka mu ssente z'abadde asolooza eweereze mukama
By Eria Luyimbazi
Journalists @New Vision
#Njiri #Kayita #Mubuulizi #Kusolooza #Ssente #kikuubo

OMUBULIZI w’enjiri y’oku luguudo aguze mmotoka loole Fuso mu ssente z’abadde akung’aanya mu bantu n’agireeta okugibalaga okubakakasa nti tazikumpanyizza.

Mmotoka Kayita gye yaguze

Mmotoka Kayita gye yaguze

David Kayita, abuulira enjiri okumpi n’omulyango oguluyingira mu Kikuubo kumakya n’olweggulo yaleese mmotoka loole gye yaguze okusobola okugiraga abantu b’abbade asondamu ssente okugibalaga nti talina nnusu gy’alyazamanyizza.

Kayita yagambye nti yatandika okusaba n’okukowoola abantu okumuyambako okusonda ssente okusobola okugula mmotoka ne bakozesebwa mu kubuulira enjiri mu January 2025 era abasinga ne bayimirira wamu naye okutuusa lwe baasonz ssente neziggwayo nagigula.

Wano musumba Kayita ng'asabira abantu mu kibuga okumpi n'ekikuubo.

Wano musumba Kayita ng'asabira abantu mu kibuga okumpi n'ekikuubo.

Yagambye nti mmotoka eno gyaguze egenda kukozesebwa mu kubuulira enjiri mu bitundu eby’enjawulo mu ggwanga kuba emabegako bwe yagendayo yafuna okusoomooza nti mmotoa gy’alina ebadde ntono wabula eno gye yaguze agenda kugiteekako siteegi kw’anaasinziira okubulira ate nga esobola okuyita mu makubo.

Yategeezezza nti bwe yafuna ekirowoozo ky’okwagala okugula mmotoka yasooka n’atya nga alowooza abantu bajja kumuyita omuyaye ayagala okubakung’anyaamu ssente zaabwe kyokka n’asalawo okukibanjulira era abasinga ne bayimirira wamu naye ne bawaayo.

Yagambye nti wakati mu kusonda ssente, waliwo abaamulumba nti aliwo kunoonya ssente nga Abasumba abamu bamufuula eky’ogerwako ku butuuti bwabwe wabula nga nabo waliwo bye basaba abagoberezi okubasonderako ate ne batabibanjulira nga ye bw’akoze.