ABA PLU e Ntebbe Sub-District bakoze bulungibwansi mu zoni ya Kitubulu-Ntebbe mu Katabi abatuuze ne bawanjagira abakulembeze b'egombolola okubongera ku bifo webakungaanyiza kasasiro asobole okuggwa mu bantu.
Ssentebe owa Zooni ya Kitubulu- Ntebe Hasan Yusuf Tandia agambye nti abantu bakyalemeddwa okukuumira Kasasiro mu bifo ebituufu nga bamala gamumansa buli wamu ekireetera ebifo ebimu okubeera nga bikyafu,nga kati engeri ebiseera gyebiri eby’enkuba kasasiro akulukuta n'agenda mu bifo abantu webakolera ekibifuula nga bijama nga wadde abakolerawo balongosaawo.
Fy 3
Bwatyo asabye abantu abasula kasasiro buli webasanze okwekomako wakiri bamukuumire mu bifo webayinza okumusanga nayolebwa ate nga bamwawudde.
Tandia era asabye Katabi Town council okubongera ku bimotoka ebisomba kasasiro mu bitundu byaabwe ate bwatuuka e Nkumba gyatwalibwa bamusanyeewo mu bwangu kubanga oluusi singa tekikolebwa ayinza okugweera mu Nnyanja nekigikosa.
Ssabakunzi wa PLU owa Ntebe Sub-District Peninah Tongyeirwe yakubiriza abantu okqagala ensi yaabwe nga tebauiwa kasisiro buli wamu n’okuziba emikutu egitambuza amazzi kubanga singa kikolebwa abantu abali mu bifo ebyo bakosebwa wamu ne nsi yonna.
Bwatyo nagamba nti ebintu ebikoleddwa gavumenti omuli enguudo,emyala,amalwaliro byetaaga okukumibwa obulungi bantu baleme kubyonona kubanga obeera olaze nti ensi yo ogyagala ate nga nabo gwemulamwa gwebatambuliza kaweefube waabwe.
Ssabakunzi wa PLU owa Katabi town council John Ndagize yagambye nti obuli woyonza ekintu moberra obeera otangira sente zewandiyonony okwenjajaba singa obeera olwadde ng’obuzibu buva ku bukyafu.
Aba PLU nga bakola bulungibwansi
Ate omuntu okulaga nti oyagala eggwanga lyo olina kwekuuma ng’oli muyonjo ng’otandikira awo ewaka wosula n’olyoka otambuza enjiri y’okukuma obuyonjo mu bitundu ebirala.
Ate Town Council ye Katabi yetaags okuwa abantu konteyina webayinza okukunganyiza kasasiro ate basomesebwa n’engeri gyebayinza okumusunsula kyanguyiza abayoola okumujawo obulungi.