MINISITULE y’ebyobulamu erabudde abantu okukomya okuseresa amabaati ga Asbestos, oluvannyuma lw’okuzuula nti gavuddeko obulwadde bwa kookolo w’amawuggwe okweyongera mu bantu abagakozesa.
Okulabula kuno kwakoleddwa omukungu okuva mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Didacus Namanya ku mukolo gw’okutongoza kampeyini y’okukomya okuseresa amabaati ga Asbestos ogwabadde ku Hotel Africana, nga kawefube ono awagiddwa aba MMI Steels Mills (U) Ltd abakola amabaati ga Kiboko.
Namanya yagambye nti amabaati ga Asbestos ga bulabe nnyo eri obulamu bw’omuntu n’agattako nti obulabe buno buyinza obutalabibwawo mangu wabula ne bweyoleka oluvannyuma lw’emyaka 10. Yakuutidde abo bonna abaali basuzeeko mu nnyumba eyaserBpesebwa amabaati g’ekika kino okugenda bakeberebwe.
Ate omukugu mu ndwadde za kookolo okuva mu mu kitongole kya Uganda Cancer Institute, Dr. James Kafeero yagambye nti omuntu abeera oba asula mu mabaati aga Asbestos waliwo obuwunga obuva ku mabaati bw’ayingiza obukosa obulamu bwe ng’asobola okufuna obulumi mu kifuba n’okukolola ekiyinza okuvaako obulwadde bwa kookolo w’amawugwe.
Akulira ekitongole kya Rays of Hope Hospice, Jinja Sylivia Nakami yagambye nti abalwadde ba kookolo bangi bagenda okutuusibwa mu malwaliro ng’obulwadde bwasajjuka dda ng’abasinga basooka kulowooza nti ddogo.
Akulira kkampuni ya MMI Steel Uganda, Heramb Kumthekar yagambye nti baakizuula nga amabaati ga Asbestos ga bulabe eri abantu era baatandika kaweefube w’okugagoba mu Uganda nga baatandika n’okugaba amabaati eri amasomero agamu e Jinja abaali baaseresa amabaati gano.
Yawabudde gavumenti ya Uganda okwongera okubunyisa enjiri y’obutaseresa mabaati gano era basomese n’abantu ku bulwadde bwa kookolo.