ZALWANGOOKUWULIRA omusango og-wawaabwa Robert Kasibante ng’awakanya obuwanguzi bwa Pulezidenti Museveni kutandikidde mu bbugumu be yawaabira bwe basabye kkooti egugobe ate abasasule obudde ne ssente ze basaasaanyizza.
Abalamuzi ba kkooti ensuk-kulumu 9 nga bakulembeddwa Ssaabalamuzi Dr. Flavian Zeija baatandise okuwulira omusango ne bawa enjuyi ebiragiro bye balina okugoberera omusango gusobole okutambula obulungi.
Abalamuzi abalala kuliko; Night Tuhaise, Mike Chibita, Elizabeth Musoke, Chritopher Madrama, Catherine Bamuge-mereire, Monica Mugenyi ne Muzamir Kibedi. Bannamateeka ba Kasibante baasoose kusaba kkooti eb-ongereyo obudde basseemu enkalala z’ebifo awaalonderwa, enkalala okwawandiikibwa ebyava mu kulonda (DR Forms), ssaako okufuna enkola y’omutimbagano eyakozesebwa akakiiko k’ebyokulonda okutam-buza ebivudde mu kulonda.Bannameeta ba Kasibante bakulemberwa John Isabirye, Dr Julius Galisonga, Ivan Bwowe, Ivan Balyejusa. Ate abawolereza Museveni ku-liko; Evans Byenkya , Edwin Karugire ,Usaama Ssebuufu, n’abalala.
Akakiiko k’ebyokulondaawolerezebwa Mwesigwa Rukutana, Brian Rubihayo, Edgar Ayebazibwe, Eric Sabiiti, Steven Tashobya n’abalala olwo Kiryowa Kiwanuka n’abeerawo n’abalala ku lwa ofiisi ye.Abawawaabirwa baakubye ebituli mu kusaba kwa Kasibante okuleeta ebiwandiiko ebirala ne bategeeza nti ky’awaaba takite-geera nga n’omusango gufudde tegunnatandika kuwulirwa.Byenkya yagambye nti Ka-sibante tamanyi nti omusango gwe yawaaba si gwa bulijjo wabula gulina ekiseera ekigere mwe gulina okuwulirwa kyokka asaba kwongera kuweebwa budde ng’alinga atalaba nti ennaku zig-gwaayo.
Yagambye nti Kasibante yassaayo dda ebiwandiiko kyokka akyaleeta ebirala n’asaba kkooti egobe omusango guno.Yayongeddeko nti omusango gw’ekika kino mu mateeka gulina okutambula museetwe awatali kutaataaganyizibwa kyokka eyawaaba alabika nga tamanyi ngeri misango bwe giti bwe gik-watibwamu ng’ate n’okusaba kuno takuleese mu mutima mulungi.Ssaabawawolereza wa gavu-menti, Kiryowa Kiwanuka yagam-bye nti okusaba kwa Kasibante kukyamu kubanga n’omusango yawaaba mukyamu.
Kasibante yasooka n’assaamu empaaba ye ate n’assaamu ensonga endala nga be yawawaabira tebannakola kwa-nukula kwonna oba okuwakanya.Kiwanuka yagambye nti oku-saba kuno tekulina kye kuy-amba mu musango nga n’ennaku ziweddeyo era beetegefu oku-genda mu maaso n’omusango gwe yawaaba awatali kubaako kirala ky’ayongerako.Ssaabalamuzi Zeijah yatadde Galisonga ku nninga oba beetegefu okugenda mu maaso n’omusango gwe baawaaaba awatali kwongerayo kintu kyo-nna okusinziira ku byavudde mu bawawaabirwa.
Kkooti yawadde ensala yaayo eyasomeddwa omulamuzi Mike Chibita n’egoba okusaba kwa Ka-sibante. Baalagidde enjuyi zonna okutuula n’okukola ku mpapula ezeetaagisa olwo bakomewo mu kkooti nga February 3, 2026.Kasibante omu ku baavuganya ku Bwapulezidenti yaddukira mu kkooti n’awaabira Pulezidenti Museveni ng’amulanga okukozesa amagye ne poliisi okutaataag-anya kampeyini z’abeesimbyewo abalala, akakiiko k’ebyokulonda okulemererwa okutegeka akalulu akataliimu mivuyo ssaako ssaba-wolereza wa gavumenti eyalemwa okuwabula ab’akakiiko ne Mu-seveni.Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda, Simon Mugenyi Byabakama yalangirira Museveni ku buwanguzi n’ebitundu 71%. Okulonda kwaliwo nga January 15, 2026 Museveni yawangula n’obululu 7,946,772.