Okusaala Idd e Mbarara ; "Mwewale Allah by'atayagala muganyulwe mu kisiibo"

Okusaala Eid el fitr e Mbarara, Abasiraamu bakubiriziddwa okwewala ebyo Allah bye yabaziyiza basobole okuganyirwa mu bye bazimbye mu Ramadan.

Okusaala Idd e Mbarara ; "Mwewale Allah by'atayagala muganyulwe mu kisiibo"
By Fatumah Nagudi
Journalists @New Vision
#Mbarara #Amawulire #Kusaala #Idd #Nyamitanga #Eid ul Fitr

Okusaala Eid el fitr e Mbarara, Abasiraamu bakubiriziddwa okwewala ebyo Allah bye yabaziyiza basobole okuganyirwa mu bye bazimbye mu Ramadan.

Okufaananako ne mu bitundu ebirala, Abasiraamu e Mbarara ku muzikiti gw’e Nyamitanga bagenze mu bungi okusaala Eid ul Fitr nga bajaguza okumalako ekisiibo.

Abakyala n'abaana bwe baabadde basaalira.

Abakyala n'abaana bwe baabadde basaalira.

Okusaala kukulembeddwa Sheikh Uthuman Kasozi eyasiimye n’ayozaayoza Abasiraamu abaasobodde okusiiba mu mwezi gwa Ramadan omutukuvu era n'abasaba obutamenyawo bye bazimbye mu kisiibo nga bakola emirimu Allah gye yabaziyiza okukola.

Kino kivaako ne Allah obutayanukula kusaba kwabwe ne bakomekkereza nga tebaganyuddwa mu kusiiba kwabwe.

Sheikh Kasozi era asinzidde wano n'abuulira Abasiraamu nti okusiiba kwe babaddemu libadde ssomero era Allah nti Allah ayagala kulaba oba bye twasomye twabiyize.

Ono agambye nti olunaku olwa Eid, lubeera lunaku lukulu mu busiraamu kubanga lwe lunaku  Allah lw'ateekako omukono ng'akkirizza ebyo by'obadde omusaba.

Sheikh Abdallah Mukwaya disitulikiti Khadi w'e Mbarara, nga naye asaalidde ku muzikiti guno ayozaayozezza Abasiraamu okumalako okusiiba era n'abakuutira obutaddirira olw'ensonga nti Allah eyakola Ramadan ye yakola n'emyezi emirala.