Bya Phoebe Nabagereka
Fredrick Lubega bba wa Phionah Lubega yayogedde ku mugenzi mu kkanisa ya St. Apollo Kivebulaaya e Nkumba bwati:
Phiona Lubega yeetutte bulungi ku ddwaaliro lya Entebbe Grade B ku Lwokusatu ng’agenze okukeberebwa omulundi gwe ogusembayo ku ‘antenatal’ wabula wakati mu kumukebera puleesa ye yalinnye ne bamukuumira ku ddwaaliro okulaba ng’ekakkana.
Puleesa yeeyongedde okulinnya wabula ekyenyamiza nga ku ddwaaliro lino tewali ‘oxygen’ amala kutaasa bulamu bwa Phionah.
Oluvanyuma lw’okulaba ng’ embeera ya Phionah etabuse, abasawo kwe kusalawo addusibwe mu ddwaaliro e Mulago - Kawempe era kwe kuleeta ambulensi wabula nga nayo terina ‘oxygen’ waakuwanirira Phionah okutuuka e Kawempe.
Mu kaseera kano omwana mu lubuto yabadde akyali mulamu.
Nga yaakatuusibwa ku ddwaaliro e Kawempe Phionah yasizza omuka ogusembayo bw’atyo n’omwana mu lubuto n’afa.
Phionah aziikiddwa e Kalagala Luweero wakati mu miranga okuva eri abooluganda n’ebemikwano.
Enkya nga May 7, 2022 baabadde bajaguza emyaka esatu mu bufumbo.