Engeri ekyuma ky'emmwanyi gyekyatuze abakozi basatu

ENTIISA ebuutikidde abatuuze b’e Zigoti ku lw’e Mityana, ekyuma ky’emmwaanyi ekya kkampuni ya Zigoti Coffee Factory Works Limited, eky’omugenzi Enock Kato bwe kisse abakozi basatu lumu ekirese ebibuuzo ku ngeri gye baafudde.

Ekyuma abakozi gye bakkiridde ne bafiirayo.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ENTIISA ebuutikidde abatuuze b’e Zigoti ku lw’e Mityana, ekyuma ky’emmwaanyi ekya kkampuni ya Zigoti Coffee Factory Works Limited, eky’omugenzi Enock Kato bwe kisse abakozi basatu lumu ekirese ebibuuzo ku ngeri gye baafudde.
Abakozi bano baafiiridde mu kyuma ekiyitibwa ‘Elevator Shaft’ nga kino kye kitambuza emmwaanyi mu mitendera egy’enjawulo okutuusa bwe zikubwa ne zifuuka kase.
Abaafudde kuliko Collins Sseguya 21, James Kimbugwe 19, ne Bashir Mwigala 25, nga bonna babadde bakola emirimu egitali gya kikugu ku kyuma kino.
Sseguya ne Kimbugwe kyategeerekese nti baaziikiddwa Kalisizo mu disitulikiti y’e Kyotera eggulo ku Ssande ate Mwigala n’aziikibwa e Kamuli mu bitundu by’e Busoga ku Lwomukaaga.
ENGERI EKYUMA GYE KYABASSE
Omwogezi wa Poliisi mu bitundu by’e Wamala, Rachael Kawala, yagambye nti Poliisi yafuna essimu ku Lwokutaano ku ssaawa nga 6:00 ez’emisana, okuva ewa maneja w’ekyuma kino, Musa Mutagwa ng’abategeeza ku byali biguddewo.
Poliisi yasitukiddemu n’egenda eggyayo emirambo, era okusinziira ku bye baakazuula, abantu bano baafudde kiziyiro ekyavudde ku bbula ly’omukka (Oxgyen) mu kyuma kino.
Poliisi bye yaakazuulawo biraga ng’ekyuma ekikuba emmwaanyi  kyabadde kikola bulungi, wabula ne kifunamu obuzibu ne kisirika, ekyawalirizza abakozi okukiggyako beetegereze obuzibu we bwabadde buvudde.
Kigambibwa nti Kimbugwe yakkiridde mu kyuma kino (Elevator Shaft) akebere alabe
obuzibu kwe bwavudde, kyokka banne baakanze kumulinda nga takomawo. Wano Sseguya naye yagoberedde alabe ogubadde era naye n’atakomawo, ne Mwigala n’agoberera era naye n’atadda.
Wano nti maneja we yalabidde nti ebintu birabika si birungi, n’akubira poliisi eyazze
n’esanga ng’abasatu bano bonna bafudde.
Omu ku bakozi ku fakitole eno, ataayagadde kumwatuukiriza mannya, yagambye nti
bulijjo ekyuma bwe kifunamu obuzibu babadde bakkirirayo ne bakitereeza era ne bakomawo nga balamu, naye ku luno ateebereza nti emmwaanyi ezaabaddemu zaakoze ebbugumu ery’amaanyi eryalemesezza abaagenzeeyo okussa obulungi
ne kibaviirako okufa.
Yagambye nti naye yabadde amaze okwetegeka akkirire mu kyuma kino alabe ekituuse ku banne, kyokka bakozi banne ne bamukwata ne bamulemesa era singa tebaakikoze agamba nti naye kati singa mufu wa jjo. Kyokka Kawala yagambye nti tewali muntu n’omu gwe baakutte ku fayiro eno, kubanga okunoonyereza kwe baakakolawo kulaga nga kano kaabadde kabenje.

ABANTU ABAZZE BAFIIRA MU FAKITOLE

1. Mu March w’omwaka guno, Martin Kayanga 26, yaseerera n’agwa mu kyuma nga kyetooloola mu fakitole y’Abachina esaanuusa ebyuma eya Chan Jiang Steel and Iron factory, esangibwa ku kyalo Buwonzi, e Sanga ku luguudo lw’e Ssemuto mu disitulikiti y’e Wakiso. Kayanga yafiira Mulago gye baamuddusa okufuna obujjanjabi.
2. Mu June 2022, Samuel Dhatemwa eyali omukozi mu kyuma kya kkampuni ya Kakira Sugar Factory ekikola swiiti yaseerera n’agwa mu kyuma ekifumba swiiti omubiri ne gufuna ebiwundu eby’amaanyi ebyamuviirako okufa.
3. Mu January 2022, abakozi basatu baafiira mu muliro ogwakwata ku kkolero lya seminti erya Hima Cement e Kasese, abakozi bwe baali baliko bye batereeza ku ttanka y’amafuta ku kkolero lino. Abakozi abalala nga munaana baafuna ebisago
eby’amaanyi.
4. Mu July 2022, ensisi yabuutukira abakozi ku Brother Wood Factory ku kyalo Ntanzi e Ntenjeru - Kisoga e Mukono, omukozi eyategeerekekako erya Brain, bwe yagwa ku kyuma ekya Chain-saw ne kimusalaasala obulere