NAMUKADDE Esther Naigwe omutuuze we Bupadengo mu Kamuli atubidde ne Muzzukulu we Joram Magumba ow’emyaka 2 n’emyezi 9 eyalwala omutima.
Naigwe agamba nti mu mwaka oguwedde ogwa 2022, muzzukulu we yalwala era n’amuddusa mu ddwaliro lya Nile International e Jinja nga eno gyebaamutegeereza nti omwana mulwadde wa mutima oluvannyuma lw’okumwekebejja.
Baamusingika ku ddwaliro e Nalufeenya nga eno baddamu ne bakebera omwana ne bakakasiza ddala nti mulwadde wa mutima era n’amalayo ebbanga lya wiiki ssatu nga omwana ali ku Oxgyen.
Oluvannyuma baamusiibula n’amala ewaka ennaku 3 ate omwana naddamu n’atabuka ne bamuweereza e Mulago nga 05 January 2023.
Agamba nti kyokka bweyatuuka e Mulago ne bamutegeeza nga olukalala lw’abntu bebalina okulongoosa mu kiseera ekyo bwerwajudde nga alina kugenda Buyindi.
Baamugamba anoonye ensimbi 26,000,000/= omwana asobole okulongoosebwa mu bwangu.
Agamba ebiwandiiko byonna abifunye kyokka nga ky’akyanoonya z’ensimbi ez’okulongoosa muzzukulu we ono.
Asabye okuyambibwako nga bayita ku ssimu 0743123937 ne 0781401037.