Embeera ya Paapa eyongedde okutabuka!

EMBEERA y'Omutukuvu Paapa Francis, 88, eyongedde okuba embi ne yeewanisa emitima gy'abagoberezi b'enzikiriza eyo okwetooloola ensi.

Embeera ya Paapa eyongedde okutabuka!
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Amawulire #Mbeera #Paapa #Bulwadde #Vatican

EMBEERA y'Omutukuvu Paapa Francis, 88, eyongedde okuba embi ne yeewanisa emitima gy'abagoberezi b'enzikiriza eyo okwetooloola ensi.

Abasawo mu Gemelli Hospital e Roma, bategeezezza nti obuwuka obuli mu mawuggwe bweyongedde obukambwe nga kati Paapa atandise okulaga obubonero bw'okuggwaamu omusaayi.

Olw'embeera eyo, akulira abasawo ba Paapa, Dr. Sergio Alfieri, yategeezezza bannamawulire nti kati bamutaddeko eccupa bazzeewo omusaayi ogukendeera. Omumyuka wa dayirekita w’ebyobulamu e Vatican, Dr. Luigi Carbone, yannyonnyodde nti Paapa yafunyeemu embeera efaanana ey’obulwadde bwa Asthma nga takyasobola kussa. 

Abasawo baafubye okumuteekako omukka (oxgyen), n’atereeramu. Baakizudde nti obutoffaali bw’omubiri obutambuza empewo mu musaayi bwabadde bukendedde nnyo, kwe kumussaako omusaayi.

Okusinziira ku kiwandiiko ekyafuluziddwa Vatican, embeera ya Paapa Francis ekyetaaga essaala kuba talina maanyi ate n’okussa kumutawaanya. Abasawo baagambye nti akyetaaga ennaku endala eziwerako nga bamujjanjaba nga tannadda
ku mirimu gye. 

Kyokka baalaze okutya nti obuwuka obuli mubifo ebimuyamba okussa, bwanditambula ne bugenda mu musaayi, ekisobola okutta ebitundu by’omubiri eby’enkizo ne kimuviirako okufa. 

Omwogezi w’e Vatican, Matteo Bruni, yagambye nti Paapa abasawo baazuula ng’amawugwe ge gaafuna yinfekisoni enkambwe, eyakosa ne payipu etambuza omukka. Paapa okulwala kyaddirira okumala wiiki bbiri ez’omuddiring’anwa ng’akola
nnyo omubiri ne gunafuwa.

Okuva olwo, amawulire agazze gafuluma galaga nti embeera ye yeeyongera okutabuka buli olukya nga kati yaakamala mu ddwaaliro ennaku 10.