MINISITA w’obuwangwa n’ennono e Mmengo, yayogedde ku by’okuziikula Paul Kafeero n’agamba nti ebyakoleddwa tebyagoberedde nnono ya Abaganda.
“ Omuganda taziikula bafu lwa buzaale wabula kikolebwa okutereeza bya nnono na buwangwa era waliwo obulombolombo obugobererwa.
Okugeza, mu Buganda abafu baziikulwa kiro, naye bano baakikoze misana ttuku. Abaserikale be baakulembedde sso nga mu nkola entuufu biba bya kukkaanya,” Minisita Wamala bw'agamba.
Ate omunoonyereza ku buwangwa n’ennono za Buganda, Kirwana Ssozi, agamba eky’okuziikula omuntu mu buwangwa bwa Buganda kikolebwa singa aba yaziikibwa mu kifo nga mu bulamu yali takyagala, era olumu nga yayogeranga oba ng’abantu be balaba nga tasaana kuwummulira awo. Okugeza singa aba yaziikibwa bukojja oba ku ggwanga, basobola okumuziikula ne bamuziika awatuufu.
EBY’ENNONO EBITUUKIRIZIBWA MU KUZIIKULA EBISIGALA
Joyce Nakawuma atwala ebyobuwangwa n’ennono mu Kika ky’Ekkobe agamba nti;
Ng'omugezi tannasimulwa wateekwa okubaawo okukkaanya kw’abooluganda lw’omugenzi. Ku mbeera ya Kafeero abaana be 20 baasoose kukkaanya bamuggyeko endagabutonde. Kyokka kirina okumanyibwa nti mu Buganda, abooluganda tebakoma ku baana bokka.
l Okutegeeza abakulembeze b’ekitundu gye musimula omugenzi ate n’okutegeeza ab’ekitundu gye mugenda okuziika. Kino kirina okutuukirizibwa kuba obumu ku buwaayiro bwa ssemateeka bulagira okuvunaana ataataaganya ebisigala by’abafu.l Omujjwa yeeyanjulira omugenzi nti, “Kojja, oba maama gundi (ayogera erinnya ly’omugenzi ery’Ekika) nze omujjwa wo gundi nzize nkuggye mu bagwira nkutwale ku butaka."
l Omujjwa y’asooka okutema enkumbi esooka ku ntaana omuli ebisigala. Omugenzi bw’aba omukazi omujjwa w’omukolo guno aba mukazi nga ne ku musajja bw’aba omusajja.
l Omusajja bw’aba ye yafiirwa omukyala, akola omukolo gw’okutema enkumbi esooka aba mujjwa wa bba sso si ow’omugenzi.
l Omujjwa y’akulembera abakugu abagenda ku kiggya ng’akutte enkoko. Bw’aba ng'ajjululwa musajja enkoko eba mpanga ate ku mukazi ebeera nseera.
l Omujjwa bw’alagibwa awali amalaalo. Yeeyanjula nti, nze ndi mujjwa wano si wammwe nkutwala ku butaka.
Atema enkumbi wabbali w’amalaalo. Olwo abazze okukola omulimu gw’ekikugu ne batandika.
l Asimula omugenzi ateekwa okukka mu ntaana ng’alina omwenge era basima bwe banywamu ate nga bwe bakomekkereza omugenzi: “Gundi totuleetako entondo n’otanula okutukolako obulabe, ennyumba yo ebadde ekaddiye tukuzimbidde empya era leero mw’osula.” Kino bakikola nga babembeekereza emizimu gireme kubagenderako okubabuza emirembe.
EBIZIRA MU KUSIMULA ABAGENZI
Dr. Adam Kimala omuwandiisi w’ebitabo by’obuwangwa agamba nti;
l Abasimula ebisigala bateekwa okwegendereza baleme kulekayo ggumba lyonna.
l Abaaliwo ng’omugenzi ono aziikibwa tebateekwa kutuuka ku ntaana. Bayimirira bbali oba n’obutagenderayo ddala.
l Omugenzi ow’engeri eno tatemerwa miranga oba okukulukusa amaziga.
l Omugenzi engeri eno aziikibwa kiro kuba Omuganda awanuuza nti omufu talaba ku njuba bbiri.
l Omugenzi ono takolebwako mikolo gikolebwa ku muntu eyaakafa nga okumuziraga n’ebirala.
LWAKI EBISIGALA BIZIIKIBWA KIRO?
Joyce Naluggya Tomusange agamba nti ebisigala okubitwala ekiro kikulu mu buwangwa kuba ekiro muba mutwaliddeko omuzimu sso emisana gwekweka abantu ate nga omuzimu kikulu nnyo mu Kika kubanga gye girung'amya abeekika.
Omuganda yeegendereza emizimu, abeekika ne bwe baba banaalima ebiggya, omulabirizi w’ekiggya akigendako eggulolimu n’ateekateeka emizimu nti abange temuvaawo enkya abazzukulu bajja kubalimako.
Peter Matovu Muyomba akulira ebyamawulire mu Kika ky’Engabi yawadde abantu amagezi okukola ekiraamo kuba eby’okuziikula abafu okubakolako endagabutonde kireetawo obunkenke mu famire
EMISANGO KKOOTI GY'EZZE ERAGIRA OKUZIIKULA ABAFU
Mu misango egy’enjawulo, kkooti ezze eragira okuziikula abafu, okusobola okutawulula enkaayana eziva ku buzaale, okulwanira ebyobugagga, n’ebirala.
Mu 2023, kkooti etawulula ensonga z’amaka, yalagira okuziikula omugenzi Frank Mugasha, bamukebere endagabutonde, okuzuula oba y'azaala omwana Sunitah Tendo. Omwana ono yavaayo oluvannyuma lwa Mugasha okufa, ng’ayagala okutebenkera mu ffamire ye, n’okugabana ku byobugagga by’omugenzi.
Nga May 22, 2026, kkooti etawulula enkaayana z’amaka, ng’ekubirizibwa omulamuzi Cilia Nagawa yalagidde okuziikula omugenzi Benon Kigambo Tumwesigye nnaggagga eyafa mu 2022. Ekiragiro kino kyaddiridde namwandu Maria Doreen Domina okutwala omusango mu kkooti, ng’akaayana nti abamu ku baana b’omugenzi si babe, era yali ababuusabuusa ng’akyali mulamu. Omulamuzi yagambye nti okukebera DNA ng’esibuka ku mugenzi yennyini, kye kijja okuyamba okutegeera abantu abatuufu abalina okuganyulwa ku mmaali y’omugenzi.