AMERICA ekubye enkambi z’amagye ga Iran agaliraanye akagolomolo k’e Hormuz omulundi ogwokusatu mu wiiki emu, Iran n'eva mu mbeera eby'enteeseganya ez'okukomya olutalo n'ebivaamu. Wabula Iran nga tennalangirira ya kuva mu bnteeseganya, amagye gaayo aga Islamic Revolutionary Guard Corps (IRGC) baayungudde mizayiro enkambwe ne gazoolekeza nkambi z'amagye ga Amerika ne Kuwait mu ngeri ey'okwesasuza.
Embeera eno eyongedde obunkenke mu kyondo kya Buwarabu era abagoberera olutalo
bagamba nti essaawa yonna emmundu yandiddamu okuseka mu bujjuvu, oluvannyuma lwa Iran okulangirira nga bw'eyimirizza enteeseganya ne America, olw’okulwanagana okw’amaanyi okuli wakati wa Yisirayiri n’abakambwe ba Hezbollah abasinziira e Lebanon. Iran egamba nti, emmundu erina okumala okusirika e Lebanon, balyoke baddemu okuteesa ne America, naye Yisirayiri eringa etadde envumbo mu matu, ng’okusinziira ku Katikkiro wa Bungereza Benjamin Netanyahu, guno gwe mukisa gwe balina okumalawo Hezbollah, era yalagidde amagye ga Yisirayiri okwongera okuyingira munda mu Lebanon emmundu etokote.
AMERICA EKUBYE NFO ZA IRAN
Okusinziira ku magye ga America agakolera mu kyondo kya Buwarabu aga US Central Command, obulumbaganyi buno baabukoze n’ekigendererwa eky’okwetaasa, oluvannyuma lw’okulaba ng’amagye ga Iran gatandise okweteekateeka nga gagenderera okulumba amagye ga America.
Mu kwanukula, amagye ga Iran aga Iran Islamic Revolutionary Guard Corps (IRGC), gaakoze obulumbaganyi obw’amaanyi ku kambi za America eziri e Kuwait e bagamba nti eno America gye yasinzidde okubakolako obulumbaganyi. America yagambye nti, ewali mujaasi waayo yalumiziddwa mu bulumbaganyi buno, era mizayiro za Iran baazikubye nga tezinnatuuka. Pulezidenti wa America, Donald Trump mu bubaka bwe yatadde ku mukutu gwe ogwa Truth Social yagambye nti, Iran eyaayaana okukola ddiiru ey’okukomya olutalo kubanga tekyalina bakulembeze ate abaliwo tebakkaanya nga buli omu tamanyi kiddako.
Okusinziira ku mukutu gwa Tasnim News Agency ogufulumira mu Iran, Iran yalagidde basajja baayo ababadde mu nteeseganya ne America okuzikomya bunnambiro era n’erabula nti yandiddamu n’okuggalawo akagolomolo k’e Hormuz.
Ensonga ezikyaliko obugulumbo wakati wa Iran ne America kwe uli nukiriya wa Iran, America gw'egamba nti eyagala emuyooleyo yenna emutwale, ate ne Iran ereme kusolooza mmeeri z’amafuta eziyita mu kagolomolo k’e Hormuz, kyokka byombi Iran ebiwakanya. Kati Iran yayongeddemu n’akakwakkulizo akalala, aka Yisirayiri okukomya okukompola bamasinale baayo aba Hezbollah, ekintu Netanyahu ky'awakanya ng’agamba nti ekiseera kituuse ejjoogo lya Hezbollah balimalewo. Kinajjukirwa nti, olutalo lwa America, Yisirayiri ne Iran bwe lwatandika, abakambwe ba Hezbollah baalweyungamu okulwanirako Iran, kyokka ebyayo bikyagaanye okuggwa wadde nga Iran yakkiriziganya ne America bagire nga basirisa emmundu.