Amawulire

Obugulumbo mu baana ba Kafeero obumaze emyaka 19

OMUYIMBI Paul Kafeero eyafa nga May 17, 2007, amaze emyaka 19 ng’akyakola amawulire okusinga abayimbi abaafa n’abakyali abalamu mu Uganda ng’ag'okumuziikula gaamenye likodi.

Omugenzi Paul Kafeero
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUYIMBI Paul Kafeero eyafa nga May 17, 2007, amaze emyaka 19 ng’akyakola amawulire okusinga abayimbi abaafa n’abakyali abalamu mu Uganda ng’ag'okumuziikula gaamenye likodi.
Okuggyako okukaayanira ennyimba ze n’engabana ya ssente z’ebivvulu ebizze bimukolebwa okumujjukira, ensonga esinze okukwata akati bukya afa, ze nkaayana mu baana be. Ezaasembyeyo zaabadde wa minisita Balaam Barugahara, eyazitandikako ng’akyali minisita w’abavubuka n’abaana kati wa Gavumenti za bitundu.
Yafulumizza ekiwandiiko eggulo ekyakakasizza nti Kafeero agenda kuziikulwa okumalawo enkaayana mu baana be, baddemu okubakeberera ku ggumba lya kitaabwe.
Abaana nga bakulemberwa Mathias Kafeero Swaziniga, baakebererwa mu kusooka era ebyavaamu byalaga bana bokka nga be ba Kafeero okwali; Swaziniga, Elizabeth Nagawa, Simon Kafeero ne Benedict Kafero Dube. Abalala abasoba mu 15 bagambibwa nti tebaali ba Kafeero era abaavuddeko okukaayana kuliko; Martin Kafeero, John Mark Kafeero, Tony Kafeero, Cate Nalukwago, Stella Namuli, Tracy Namuddu, Aron Kafeero, Birungi Namugerwa Tina (azaalibwa mukulu wa Kuliva eyali muka Abdul Mulaasi), Bridget Nalukwago, Joan Mirembe Nantongo, Chosen Prince Paul Kafeero
Abaana abo baawaaba mu kkooti nga baagala Kafeero aziikulwe kuba nti okubakebera okwasooka baakozesa ssaayansi w’omusaayi nga bwe baakebera abaana bonna, abaafaanaganya omusaayi beebo abaatwalibwa nga abooluganda era aba Kafeero. Abaasuulibwa ebweru baakiwakanya era bazze battunkira mu kkooti nga DNA be yasuula bakulemberwa looya Joseph Luzige owa M/S Luzige, Lubega, Kavuma and Co. Advocates.
Abawaawaabirwa babaddenga bakulemberwa Luyimbaazi Nalukoola owa Nalukoola, Kakeeto Advocates and Solicitors. Omusango gwali mu kkooti y’amaka e Makindye ng’omulamuzi Joseph Murangira ye yaguli mu mitambo. Yagaana okuziikula Kafeero n’abawa amagezi baddeyo beetereeze n’okubakebera mu ngeri endala.
ENGERI EBIVVULU N’ENNYIMBA ZA KAFEERO BWE BIZZE BIBAKAAYANYA
lKafeero azze bamukolamuebivvulu ne bikaayanya abaanan’abeng'anda nga ekyabaddewoomwezi oguwedde mu Buikwe.
lEbivvulu ekika ekyo byatandika February 5, 2012 mukisaawe e Nakivubo mu kivvuluStar Tafa, okumujjukira bwe yaliaweza emyaka etaano bukya afa.
lMu 2012 Kafeero yamenyalikodi e Bungereza mu kivvulu ky’okumujjukira nga 17May, 2012 mu East London,nga pulomoota waakyo Robert Nsubuga Kageme agambanti, omuyimbi Kafeero yeyasooka okukola ekivvulu mukibuga ekyo n’ajjuza ekifo ngatewali amuwerekeddeko eran’ekyokumujjukira ne kijjumbirwa.
lEnnyimbaze zizze ziddibwamunaddala olwa Walumbe zzaaya. OlwoGravity Omutujju yaluddamu nayen’ayombya aba famire nti tebaasookakumuwa lukusa. Kafeero yalufulumya1994, ne lumuwa ettutumu ate bwe yafalwakubwa okusinga ne bwe yali omulamu ate buli lwe babadde boogera kuby’okumuziikula nga balwongeramu.
Oluyimba olwo lwaweesa Kafeero amannya okwali Omukunja Saafi, erya Jobn’erya Prince. Lwamuwanguza n’enguleya Golden Boy of Africa gye yavuganyaako n’abayimbi 7,000 mu Africa yonnan’abamega.
lMu 2013, Robert Kyagulanyi Ssentamu(Bobi Wine) yaddamu oluyimba lwe olwaDipo naziggala. Oyo teyalinda kukkaayana na baana ba Kafeero n’asasulaomusika Simon Kafeero ne bakkaanya

Tags: