EBYOKWERINDA binywezedwa ku kyalo Busansula e Masaaba mu disitulikiti y’e Buikwe, poliisi bw’ebadde eteekesa mu nkola ekiragiro kya kkooti okuziikula ebisigala bya Paulo Kafeero bitwalibwe mu bakugu okusobola okuggyako abaana be endagabutonde okumanya abatuufu be yazaala.
Embeera eno yaleetebwawo abamu ku bamulekwa abeekubira enduulu mu kkooti nga baagaba baddemu bakebere endagabutonde nga bagamba nti ebyasooka okukolebwa byalaga nti Kafeero si y’abazaala, bo kye bawakanya.
Mu Mmande, poliisi yakedde n’abavunaanyizibwa okuziikula mu kifo awaaziikibwa Kafeero, era Bukedde we yatuukiddewo nga poliisi eteekedwa kumpi ku buli kkubo erigenda ku kiggya, okuziyiza abatuuze okusemberera entaana.
Mu luggya we twasanze ssanduuko ebisigala bya Kafeero mwe byabadde bizziddwa oluvannyuma lw’okuziikulwa ne baggyako eggumba erimu ery’ekisambi era aba kkampuni enziisi abaakoze omulimu guno baasangiddwa bakola butaweera okuzzaawo entaana eyabadde esimuddwa olwo baddemu baziike bulungi.
Abatuuze b’e Nkokonjeru abaasangiddwa okumpi n’ebiggya baakubaganye empawa ng’abamu bawagira okuziikulwa kwe abalala nga bakiwakanya. Abawakanya baanenyezza nnyo mutabani w’omugenzi ayitibwa Swaziniga nti bino byonna ye yabireese bwe yatandika okuboola banne.
Abatuuze era baalaze nti si basanyufu ne Swazi okutegekanga ebivvulu bya Kafeero e Nkokonjeru ng'abalimba nti agenda kuzimba nnyumba ya Kafeero ekintu ekitaakolebwa.
Abamu ku baana ba Kafeero abaabaddewo baalambuzza abaamawulire ettaka eriweza yiika 26 muganda waabwe ono ly’azze atunda n’okugabirako balooya bamulwanireko entalo.Abamu ku batuuze bwe baagaaniddwa okusem-berera entaana ya Kafeero, baatandise kuyimba ezimu ku nnyimba ze nga akabonero k’omukujjukira.Munnamateeka w’abaana ba Kafeero ababoolebwa, Joseph Luzige yagambye nti, tewali yandyagadde kuzikuula Kafeero wabula baagala kum-alawo butakkaanya obuliwo mu baana.Luzige yagambye ekid-dako kuggyako buli mwana wa Kafeero endagabutonde ku Lwokusatu, bwe banaa-mala olwo batandike ku mulimu gw’okununula ebintu bya Kaf-eero ebyatundibwa.Muto wa Kafeero, Abubaker Nende Kafeero yeebazizza minisita Balaam Barugahara olw’amaanyi g’ataddemu oku-laba ng'abaana bafuna obwenkanya.Ssentebe w’ekyalo Busansula, Kafeero we yaziikibwa, Aloy-sious Kasimagwa yeesambye eby'okuteeka omukono ku ndagaano ezigula ettaka lya Kafeero era yanenyezza abaana olw'okuboolagana.Dr. Moses Byaruhanga akulira abasawo mu poliisi yagambye, abadde ateekesa kiragiro kya kkooti mu nkola era enjuyi zombi zaategeerana okuziikuula Kafeero. Yagambye nti sam-polo ezaggyiddwa ku ggumba ly’omugenzi, zigenda kutwalib-wa mu labalatole ya Gavumenti okwekebejjebwa.