Amawulire

Kkooti ey'okuntikko ekakasizza akalabba ku bantu abatta abaana abato

EMYAKA 19 egiyise omusajja Muzahamu Mutema Tegika yatta omwana we ow'emyaka ebiri oluvanyuma lwokufuna obutakkanya ne mukazi we.

Kkooti
By: Margret Zalwango, Journalist @New Vision
EMYAKA 19 egiyise omusajja Muzahamu Mutema Tegika yatta omwana we ow'emyaka ebiri oluvanyuma lwokufuna obutakkanya ne mukazi we.
 
Tegika yasooka kulwanagana ne mukazi we kyokka omukazi bweyesimattula nadduka,yakwata mwana waabwe Doreen Mutunda n'amuwuttula nga bwamutuga era yagenda omuvaako ng'asigaddeko kikuba mukono.
 
Bino byali ku kyalo Iukula mu disitukiti ye Namutumba ku ssaawa bbiri ez'ekiro enjega eno lweyagwawo era nnyina w'omwana bweyatuuka gyeyali addukidde omutima gw'obuzadde ne gumuluma yagenda okudda ne mwanyina baasanga Tegika akuba omwana era yamubawa ngazirise ,yafa nga bamutuusa ku ddwaliro.
 
Ebbaluwa ya dokita eyekebejja omulambo yalaga nti omwana yakubwa nnyo nakutuka ensingo kwossa okutugibwa nafuna ekiziyiro ebyamuviirako okufa ngate kitaawe yagaana nokuwaayo ssente omwana ajjanjabibwe.
 
Tegika yakwatibwa n'avunaanibwa ogwobutemu era kkooti enkulu ne musindika kalabba najulira wabula kkooti ejulirwamu yagoba okujulira kwe naddukira mu kkooti eyokuntikko ng'eno baakamutemye nti alinde kalabba olwekikolwa kyeyakola.
 
Abalamuzi bataano aba kkooti y'okuntikko okuli Mike Chibita, Elizabeth Musoke, Christopher Izama Madrama, Catherine Bamugemereire ne Monica Mugenyi awatali kwekutulamu bakkiriziganyizza nti Tegika ateekebwe kalabba olw'ettima lyeyayolesa Ku mwana eyali tasobola kwerwanako ng'ate yamuzaala.
 
Tegika yaddukira mu kkooti eno ng'agamba kkooti ez'asooka zakola ensobi bwezalemwa okutunuulira nti gwali mulundi gwe ogusoose okuzza omusango ng'ate muvubuka akyali omuto asobola okukyusa. Yayongerako nti kkooti ezo era tezasengejja bulungi bujulizi okutuuka ku nsala yokumuwa akalabba.
 
Ssabawaabi wa gavumenti yalemerako nti tewali nsonga yonna esonyiyisa Tegika kubanga yakkira omwana omuto ennyo n'amutta nolwekyo tewali kibonerezo kisinga kalabba ku nsonga eyo.
 
Abalamuzi mu nsala yaabwe baagambye nti Tegika mu kwewozaako yalimba ne kkooti nti omwana yabimba jjuvu nokwesiga ebyamuvirako okufa ngate waaliwo ebbaluwa ya dokita eyekebejja omulambo . Tegika yeewozaako nga talayidde olwo tewali yamubuuza kibuuzo kyonna.
 
Abalamuzi baayongeddeko nti obutemu buno bugwa mu misango egitatera kulabika ngalabba kyekibonerezo kyokka ekiriwo mu mbeera eyo. Baayongeddeko nti engeri omwana oyo gyeyakubwa nebweyandibadde tafudde,yandifunye obulemu obwolubereera kubanga yamunuula ensingo ngera yeekwasa nti siyeyali amuzaala.
 
Abalamuzi bano baagambye nti kkooti erina obuvunanyizibwa okubonereza abazzi bemisango bwebati naddala mu mbeera ng'omwana talina bwasobola kwerwanako wakati mubutakkanya obuli wakati wabazadde.
Bagamnbye nti buvunayizibwa bwa kkooti okukuuma abaana mu butabanguko naddala nga birimu endaga butonde (DNA) mu ggwanga.
 
Kkooti yalabudde abasajja abakozesa efujjo ku baana naddala nga bekwese mu kyobuzaale bwabwe nti bajja kuweebwanga bibonerezo ebikakali nolwekyo abalamuzi baagambye tewali nsonga ezasisaamu kibonerezo kha kalabba ekyamuweebwa kkooti ezasooka era nebasala kitole Tegika ateekebwale kalabba.
 
Wadde ngekibonerezo kya kalabba kyagibwawo mu musango ogwa Suzan Kigula nabalala abaali baasalirwa akalabba nebakiwakanya, kkooti zikyawa ekibonerezo ekyo era ssiinga kkooti eyokuntikko ekikusalira ,amateeka gawa pulezidenti weggwanga olukusa okussaako omukono asaliddwa nattibwa.
 
Tegika yabadde awolerezebwa bannamateeka Henry Kunya ne Emmanuel Muwonge ate Charles Richard Kamuli okuva mu ofiisi ya ssabawaabi wa gavumenti ku lwoludda oluwaabi.
 
Bino webigidde ngomulamuzi Alice Khomuhangi Khaukha yakasalira omuvubuka Christopher Okello Onyum namusindika kalabba olwokutta abaana bana e Ggaba Ku kifo ekya Ggaba Early Childhood Development Center bweyabalumba nga April 2,2026 nabasala ebiso ebyabakutula obulago.
Tags: