Obukadde 620 ze zisondeddwa ku mulimu gw'okuzimba eddwaliro ly'Abaadiventi e Kireka

ABAADIVENTI  basonze obukadde obusoba mu 600 mu kaweefube w’okumaliriza omulimu gw’okuzimba eddwaliro ly’Ekkanisa erya Kireka Adventist Hospital erigenda okweyambisibwa abantu mu kubajjanjaba endwadde ez’enjawulo.

Obukadde 620 ze zisondeddwa ku mulimu gw'okuzimba eddwaliro ly'Abaadiventi e Kireka
By Huzaima Kaweesa
Journalists @New Vision
#Abaadiventi #Kkanisa #Kireka #Kusonda #Ddwaaliro

Yinginiya Valentine Katabira akulira akakiiko akazimbi ak’eddwaliro lino ategeezezza nti omulimu gw’okuzimba eddwaliro lino gwatandika mu mwaka gwa 2015. Yayongeddeko nti ligenda kubeerako  ebizimbe eby’amaanyi bitaano okuli waadi ey’ebitanda 500, ekifo we balongooseza, essomero ly’abasawo n’ennyumba z’abasawo.

Minisita Babalanda (owookubiri ku kkono) bwe yabadde alambuzibwa omulimu gw'okuzimba eddwaliro we gutuuse.

Minisita Babalanda (owookubiri ku kkono) bwe yabadde alambuzibwa omulimu gw'okuzimba eddwaliro we gutuuse.

Yagambye nti mu kiseera kino babadde baakakung’aanyaawo Obukadde 600 n’emitwalo 23 kuva mu makanisa ag’enjawulo. Baalabye omulimu gukyali munene ne basalawo okutegeeza ku bantu bajje bakwatire wamu okulaba nga bamaliriza omulimu guno nga December  31, 2022 terunnatuuka.

Rebecca Tusuubira Luutu akulembera eby’obulamu mu Central Buganda Conference e Kireka ategeezezza nti eddwaliro lino balisuubira okuba nga ligenda kuwa obuweereza obw’omutindo ogwawaggulu ku ndwadde zonna ezitawaanya abantu ng’omu ku kaweefube w’okukuuma abantu b’eggwanga nga balamu ku nsimbi ensaamusaamu.

Ekizimbe ky'eddwaliro lya Kireka dventist Hospital ekiri mu kuzimbibwa nga bwe kifaanana.

Ekizimbe ky'eddwaliro lya Kireka dventist Hospital ekiri mu kuzimbibwa nga bwe kifaanana.

Omulabirizi wa Central Buganda Conference mu kkanisa y’Abadiventi  Samuel  Kajoba ategeezezza nga omulimu gw’okusonda ensimbi bwe guzze gubeerawo era tekirina kwewuunyisa nnyo bantu.

Akubirizza abantu okwettanira okuwaayo kubanga y’emu ku ngeri gye bayinza okukola ebintu ebiyamba okwekulaakulanya. Kajoba era akubirizza abantu bonna okwettaniranga omulimu gw’okuwaayo eri Mukama Katonda olwo naye afune amaanyi agabakolera ku byetaago byabwe bye babeera bamusabye.

Minisita w’ensonga z’obwapulezidenti Milly Babirye Babalanda, yeetabye ku mukolo gw’okusonda ensimbi z’eddwaliro lino n’asiima abantu olw’omutima gwe balaze ku nteekateeka z’eddwaliro lino.

Yasabye abantu abalala bonna okwongera okuvaayo okubadduukirira kubanga eby’obulamu bituyambira wamu. Babalanda yawaddeyo obukadde 20. Obukadde 620 ze zisondeddwa zonna awamu okumaliriza omulimu gw’okuzimba eddwaliro.