Bano nga bayita mu kibiina kyabwe ekya Seventh Day Parlamentaly Association of Uganda bakung’aanidde ku kitebe ky’eddiini eno e Makerere okusala entotto ku ngeri gye basobola okuyimiriza enteekateeka eno.
Bano oluvannyuma lw’akafubo basisinkanye Katikkiro wa Uganda okumunnyonnyola ku ngeri gye bayinza okunyigirizibwaamu ssinga enteekateeka y’okusomesa abaana ku Lwomukaaga etongozebwa era ne bamukakasa nti bo tebagiwagira.
Katikkiro wa Uganda Robinah Nabbanja ku (ku kkono) ng'ayogera eri abaadiventi. Wakati ye Dr. Daniel Mate akulira enzikiriza y'Abaadiventi mu ggwanga
Pr. Dr. Denis Male akulira enzikiriza y’Abadiventi mu Uganda y’asomye ekiwandiiko ku lw’Abadiventi mu ggwanga era n’ategeeza Katikkiro w’eggwanga Robina Nabbanja nti ssinga enkola eno etandika okukola mu ggwanga Abaadiventi bangi omuli abaana n’abasomesa bagenda kukosebwa kubanga bo enzikiriza yaabwe tebakkiriza kukola mulimu gwonna ku Lwomukaaga.
Nabbanja ku ((mu kyenvu) ng'alatuuka ku kitebe ky'abadibenti e Makerere. Mu ttaayi emufu ye Dr. Danuel Mate akulira enzikiriza y'abadiventi mu ggwanga ng'addiriddwa Aidah Nantaba omubaka omukyala owa Kayunga mu palamenti.
Josephat Tumwesigye, akulira akakiiko k’Abakaka Abaadiventi mu Palamenti agambye nti waliwo n’ebintu ebirala bingi ebinyigiriza Abaadiventi mu byenjigiriza omuli n’amatendekero aga waggulu okukaka abayizi okukola ebigezo ku Lwomukaaga ekintu ekibanyigiriza ennyo.
Ye Katikkiro w’eggwanga Robinah Nabbanja agumizza ababaka bano b’Abadibenti bonna mu ggwanga nti gavumenti teteesangako kusomesa bayizi ku Lwomukaaga era n’abagumya nti kino tekijja kukola.