"Tuli bannamawulire si balabe bammwe"

Bannamawulire abava mu kkanisa y'Abadiventi mu ggwanga bakung'aanidde ku Kkanisa ya Mukono Central SDA nga beegatta ku bannaabwe mu nsi yonna okukuza olunaku lwabwe mu kkanisa ya SDA.

"Tuli bannamawulire si balabe bammwe"
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Bannamawulire #Joshua Musaasizi Nsubuga #Josephine Namakumbi #John Cliff wamala #Balabe #Newvision #Ssekanjako

 Henry Ssekanjakko owa New Vision, Josephine Namakumbi owa NBS, ne John Cliff Wamala owa NTV baagambye nti na buli kati bakyanyiga ebiwundu  ebyabatuusibwako nga bakola omulimu gwabwe.

Namakumbi (ku kkono), wamala (wakati) ne Sekanjako owa NewVision

Namakumbi (ku kkono), wamala (wakati) ne Sekanjako owa NewVision

Baalombozze engeri gye baabakubamu de ng’ate baali bayambadde bulungi ebyambalo ebiraga nti ba mawulire. Bino byaliwo nga bakwata amawulire ku akulira ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu ng'agenze e Kololo ku kitebe United Nations Human Rights Commission (UNHRC).

Namakumbi yategeezezza Bukedde nti mu ngeri ey’olubalaato omwogezi wa UPDF Flavia Byekwaso yamuweereza obubaka ku WhatsApp ng’amusaba akolagane ne banne bwe baakubibwa  e 17 boogere ensimbi ze baagala baliyirirwe ez’obujjanjabi.

Wabula ye agamba nti yagaana okukikola n’ategeeza nti baasazeewo okuddukira mu kkooti beekubire enduulu okulaba ng’abo abaabakolako obulumbaganyi bakangavvulwa ate nabo baliyirirwe ng’amateeka bwe galagirwa.

Henry Ssekanjankko ne Cliff Wamala nabo baayogedde engeri gye baasimattuka. Apollo Mubiru, omukadde omukulu ow’Ekkanisa eno nga naye munnamawulire yagambye nti tekyetaagisa kubeera ya kabwa na ngo wakati w’abannamawulire n’ebitongole by’ebyokwerinda nga balina kussa kimu nga bakola emirimu.

Joshua Musasizi Nsubuga, ssentebe w’ekibiina ekigatta bannamawulire Abaadiventi yagambye nti buba busiiwuufu bwa mpisa abaserikale  okukuba bannamawulire abali ku mirimu gyabwe.

Musaasizi Nsubuga akulira bannamawulie Abadiventi

Musaasizi Nsubuga akulira bannamawulie Abadiventi

 Pr. Mike Mayanja eyakulembeddemu okusaba yasabye pulezidenti w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni obutakkiriza babyakwerinda kukola bintu ebyakyayisa gavumenti n'asaa ne  bannamawulire obutafotooka mu nkola yaabwe ey’emirimu basigale ku mulamwa.