Pulezidenti w’Abadiventi mu ggwanga, Pr. Daniel Mate ng’awaayo okwemulugunya kuno kw’asabye kutwalibwe butereevu ewa Pulezidenti Museveni agambye nti kye basaba gavumenti ekendeeze bukendeeza ku nnaku z'okuwummula kubanga eky'okulufuula olunaku lw'okuwummula kiba kikontana ne ssemateeka w'eggwanga wamu n'amateeka gw'eddiini.
Katikkiro Nabbanja ng'atuuka
Ono abadde wamu n'ababaka ba Palamenti okuva mu nzikiriza eno okuli ssentebe waabwe Josephat Tumwesigye owa Bugangaizi South, Aidah Nantaba omubaka omukyala ow'e Kayunga n'abalala ku kitebe kyabwe e Makerere. Era asabye eky’okukola ebigezo ku ssetendekero ku Lwomukaaga nakyo kiggyibwewo.
Nantaba ng'atuuka
Wabula, mu kumwanukula Nabanja amutegeezezza nga kabinenti bw’etannakola ku kirowoozo kyakufuula lunaku luno lwakusoma ng’ekyo kyabadde kirowoozo kya Mugimba nga omuntu nga ku ky’okukola ebigezo ku Lwomukaaga amugumizza nti waakwogera ne minisita Janet Kataha Museveni.