Omulabirizi wa Badiventi owa Central Uganda Conference, Samuel Kajoba alabudde Abasumba ba badiventi obutageza kubuulira njiri nga tebagoberedde bayibuli kubanga eno ye ngeri yokka gye boogeramu ne Katonda.
Omulabirizi Samuel Kajoba (ku kkono) Ng'ayanjula Mutabani We Omusumba Dan Ssekkubwa Ng'omusumba W’obusumba Bw’e Kawempe Obwabadiventi Bwe Yatongozza.
Okwogera bino Omulabirizi Kajoba abadde atongoza Obusumba bw’e Kawempe ng’omukolo gubadde ku kkanisa ya Badiventi e Kawempe ng’eno balondoddeyo mutabani we Dan Ssekkubwa ng’Omusumba w’Obusumba buno nga bwe kutudde ku Busumba bw’e Maganjo.
Kajoba yagambye nti waliwo bannaddiini abamu ababuulira enjiri nga tebagoberedde bayibuli n’agamba ng’abo bwe bagoberera ekitabo ekitukuvu ekya bayibuli kyokka na byonna ebikirimu bo bye bakkiririzaamu tewali na kimu kye bongeramu.
Mmeeya W'e Kawempe Sserunjogi Emmanuel Naye Yabaddeyo Ku Mukolo.
Agambye nti omuntu yenna Omwadiventi okukula mu mwoyo alina okubeera ng’amanyi okusoma bayibuli .
Omulabirizi Kajoba yenNyamidde olw’ebikolwa ebimu ebiriwo mu bantu n‘agamba nti bino byonna biva ku bantu okuva ku kigambo kya Katonda.
Omusumba Ssekkubwa asuubizza nga bw’agenda okutambuza obulungi Obusumba buno ng’atambulira ku kigambo kya Katonda ekiri mu bayibuli era n’asaba abakulembeze bane mu Busumba buno wamu n’Abaadiventi okwekkiririzaamu mu buli kye bakola mu mulimu gwa Katonda bajja kutuuka ku buwanguzi.
Agambye nti mu buweereza bwe agenda kufuba nnyo okusembeza abakyala mu buweereza era n’abasaba babeere bumu mu Busumba buno bajja kutuuka ku buwanguzi.
Omukolo gwetabiddwako abantu ab’enjawulo okubadde mmeeya w’e Kawempe, Emmanuel Serungogi ng’ono asuubizza okukwatagana obulungi ne Ssekkubwa mu bukulembeze bwe.