Ssaabalabrizi w’ekkanisa ya Uganda, Dr. Stephen Kazimba Mugalu, asabye Bannayuganda okwetwalira Yesu azaaliddwa olw'emirembe.

Eyaliko Ssaabaminisita wa Uganda, Amama Mbabazi ne mukyala we, mu kusaba ku All saints e Nakasero.
Bw’abadde akulembeddemu okusaba kwa Ssekukkulu ku kanisa ya All Saints Cathedral church e Nakasero, Bp.Kazimba asabye abakkiriza okwekwata ku Katonda mu mbeera yonna kuba ye talibaleka, nga kye yava yatuukiriza ekisubizo kye n’atuweereza Yesu okwongera okutukakasa nti talituleka.
Okusaba kwetabiddwako akulira akakiiko akalwannyisa enguzi mu maka g’obwapulezidenti, Col Edith Nakalema, eyaliko Katikkiro wa Uganda, John Patrick Amama Mbabazi, akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku kukung’aanya omusolo mu ggwanga, ki URA John Musinguzi, minisita omubeezi ow’abaliko obulemu Hellen Asamo n'akulira Arua Limited Mao Mbabazi.

Col Edith Nakalema (wakati) naye yabaddeyo
Ssaabalabrizi Kazimba yasabye Bannayuganda okweyunga ku Katonda olw'akalulu akataliimu fujjo n'abakuutira okwagalana baleme kwetemaatemamu olw’akalulu wadde nga baawukanya endowooza n'ategeeza nti ffenna tuli baaluganda.

Bp. Kazimba ng'asaba omukisa.
"Temulina kutya olw'entalo ezibalimu n'ezo ze mulina ne balirwana kuba Katonda ali naffe era nga yatusuubiza twongere okumwekwata n'okumunywererako," Ssaabalabrizi Kazimba bwe yategeezezza.

Kazimba ng'asaba omukisa.